1Awo Mukama nʼayogera ne Yona omwana wa Amittayi ngʼagamba
2nti, “Situka ogende e Nineeve mu kibuga ekyo ekinene obatuuseeko obubaka buno obubanenya, kubanga ebibi byabwe birinnye eno waggulu ne bintukako.”
3Naye Yona nʼadduka okuva mu maaso ga Mukama, nʼaserengeta okulaga e Talusiisi. Nʼaserengeta e Yopa gye yasanga ekyombo, nʼakirinnya okugenda e Talusiisi. Ngʼamaze okusasulira etikiti ye, nʼasaabala mu kyombo ekiraga e Talusiisi ngʼadduka okuva mu maaso ga Mukama.
4Awo Mukama nʼaleeta omuyaga ogwʼamaanyi ne gukunta ku nnyanja, nʼekyombo Yona mwe yali ne kyagala okusaanawo.
5Entiisa eyʼamaanyi nʼekwata abalunnyanja bonna, buli omu nʼakaabirira katonda we amuyambe, nga bwe basuula nʼemigugu egyʼebyamaguzi mu nnyanja bakendeeze ku buzito obwali mu kyombo.
6Naye omugoba omukulu owʼekyombo nʼaserengeta gye yali nʼamugamba nti, “Oyinza otya okuba nga weebase? Situka okaabirire katonda wo, oboolyawo anaatukwatirwa ekisa nʼatulokola.”
7Awo abalunnyanja ne boogeraganya nti, “Mujje tukube obululu, tuvumbule omuntu yennyini avuddeko omutawaana guno.” Ne bakuba obululu, akalulu ne kagwa ku Yona.
8Abalunnyanja ne babuuza Yona nti, “Tubuulire, lwaki otuleetedde akabi akafaanana bwe kati, kiki kyʼokoze? Okola mulimu ki? Ova wa era oli wa nsi ki, nʼabantu bo be bʼani?”
9Yona nʼagamba nti, “Ndi Mwebbulaniya; era nsinza Mukama, Katonda wʼeggulu eyakola eggulu nʼensi.”
10Awo ne batya nnyo ne babuuza nti, “Kiki kino kyʼotukoze?” Kubanga baali bategedde nti yali adduka mu maaso ga Katonda nga bwe yali amaze okubategeeza.
11Awo ne bamugamba nti, “Tukukole tutya ennyanja erongooke?” Kubanga ennyanja yali yeeyongera bweyongezi okufuukuuka.
12Nʼabagamba nti, “Munsitule munsuule mu nnyanja ennyanja eneeteeka, kubanga esiikuuse ku lwange.”
13Naye abalunnyanja ne bagezaako nnyo okugoba ku ttale, kyokka ne batayinza, kubanga omuyaga gwagenda gweyongera bweyongezi.
14Kyebaava bakaabirira Mukama ngʼabagamba nti, “Tukwegayiridde Ayi Mukama, totuleka kufa olwʼobulamu bwʼomusajja ono, era totuteekako musango olwʼomusaayi gwe nʼokufa kwe, kubanga oleese omuyaga olwʼesonga.”
15Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja eyali eyira. Amangwago omuyaga ne gusirika.
16Abasajja ne batya nnyo Mukama, ne bawaayo ekiweebwayo gyʼali ne beeyama obweyamo.
17Mukama yateekateeka ekyennyanja ekinene ennyo ne kimira Yona; Yona nʼamala mu kyennyanja ekyo ennaku ssatu emisana nʼekiro.