Yona 2:1-10 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yona nʼasinziira mu kyennyanja nʼasaba Mukama Katonda we, ngʼagamba

2nti,

2“Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama nʼanziramu; mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola, era nʼowulira eddoboozi lyange!

3Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja, ne nzika, amayengo gonna, ensozi nʼensozi zʼamazzi ebikunta ne bimbikka ne binneetooloola.

4Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go; Ddala ndiddayo nate okulaba yeekaalu yo entukuvu?’

5Nakkira ddala ku ntobo wansi wʼamayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi; Amazzi nga ganneetoolodde era ngʼomuddo gwʼomu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.

6Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi zʼomu nnyanja gye zisibuka, eyo, ensi nʼensibirayo emirembe nʼemirembe. Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya, Ayi Mukama Katonda wange.

7Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ngʼezirika ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda. Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka mu yeekaalu yo entukuvu.

8Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza, beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!

9Naye nze, nʼoluyimba olwʼokukutendereza, ndikuwa ssaddaaka. Ddala ndituukiriza obweyamo bwange kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”

10Awo Mukama Katonda nʼalagira ekyennyanja ne kiwandula Yona nʼagwa ettale ku lukalu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>