Yona 3:1-10 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yona omulundi ogwokubiri, nʼamugamba nti,

2“Genda mu kibuga ekinene Nineeve obalabule nʼobubaka buno bwe nkuwa.”

3Awo Yona nʼagondera Mukama nʼagenda e Nineeve. Nineeve kyali kibuga kya kitiibwa nnyo era nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna.

4Ku lunaku olwasooka Yona yatambula olunaku lwonna ngʼagenda alangirira nti, “Bwe waliyitawo ennaku amakumi ana, Nineeve kirizikirira.”

5Abantu bʼomu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi.

6Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka wʼe Nineeve, nʼayimuka ku ntebe ye eyʼobwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, nʼatuula mu nfuufu.

7Kabaka teyakoma awo, wabula nʼayisa nʼetteeka nʼalibunya Nineeve yonna nga ligamba nti, “Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana nʼekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi;

7Olwʼekiragiro kya kabaka nʼabakungu be:

8naye buli muntu nʼekisibo bibikkibwe nʼebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona nʼokukola ebyʼobukambwe.

9Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira nʼakkakkanya obusungu bwe nʼatatuzikiriza.”

10Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka nʼebibi byabwe, nʼabasonyiwa nʼatabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>