Yona 4:1-11 LGCB2014 - Bible AI

1Naye Yona nʼanyiiga nnyo.

2Nʼalyoka yeemulugunyiza Katonda nʼamugamba nti, “Kino ddala kye nalowooza, Mukama, bwe nnali mu nsi yʼewaffe, lwe wasooka okuŋŋamba okujja eno. Kye kyanzirusa nʼokunzirusa okugenda e Talusiisi; kubanga namanya nti ggwe oli Katonda ajjudde obulungi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era namanya nti ojja kwanguwa okukyusa entegeka zo ezʼokuzikiriza abantu bano.

3Kale nno nkwegayiridde Mukama nzita; okufa kisinga okuba omulamu.”

4Awo Mukama nʼagamba nti, “Olina ekituufu kwʼosinziira okunyiiga?”

5Awo Yona nʼafuluma ebweru wʼekibuga nʼabeera ku luuyi lwakyo olwʼebuvanjuba, era ne yeekolerawo akasiisira mu makoola, nʼalinda alabe ekinatuuka ku kibuga.

6Ebikoola byʼakasiisira bwe byʼawotoka olwʼomusana, Mukama nʼategeka ekiryo ne kimera mangu amakoola gaakyo ne gabikka ku mutwe gwa Yona ne gakendeeza ku musana. Yona nʼasanyuka nnyo olwʼekiryo.

7Naye ate enkeera Katonda nʼaleeta ekiwuka, ne kirya ekiryo ne kikala ne kifa.

8Ngʼenjuba yeewanise, Katonda nʼalyoka alagira embuyaga eyʼEbuvanjuba eyʼolubugumu okufuuwa Yona, omusana ne gumwokya nnyo mu mutwe okutuusa lwe yazirika. Nʼayagala afe. Nʼayogera nti, “Okufa kusinga okuba omulamu.”

9Mukama nʼalyoka amubuuza nti, “Olina ekituufu kwʼosinziira okunyiiga olwʼekiryo ekikaze ne kifa?” Yona nʼaddamu nti, “Yee, kituufu nze okunyiiga ennyo nʼokwegomba okufa.”

10Mukama nʼamugamba nti, “Osaalirwa olwʼekibikka kyo ekyonoonese songa si ggwe wakimeza, ate nga kyo kyali kya kiseera buseera.

11Kale lwaki nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene nʼabantu baamu emitwalo ekkumi nʼebiri nʼokusingawo, nʼente zaakyo ennyingi bwe zityo, abantu abatasobola kwawula kirungi na kibi?”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>