Yoswa 1:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Musa omuweereza wa Mukama bwe yamala okufa, Mukama nʼagamba Yoswa mutabani wa Nuuni, eyali omubeezi wa Musa nti,

2“Musa omuweereza wange afudde, kale kaakano weeteeketeeke osomoke omugga guno Yoludaani ggwe awamu nʼabantu bano bonna mulyoke muyingire mu nsi eno gye mbawa mmwe abaana ba Isirayiri[1].

3 Nga bwe nasuubiza Musa, buli we munaalinnyanga ekigere, mbawaddewo.

4Mbawadde ekitundu ekyo kyonna okuviira ddala ku ddungu ne ku Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, Fulaati, nʼensi eyʼAbakiiti nʼokutuukira ddala ku Nnyanja Ennene ebugwanjuba.

5Tewali nʼomu alisobola kubaziyiza ennaku zonna ezʼobulamu bwo; nga bwe nabeeranga ne Musa era bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe, sirikuleka wadde okukwabuulira.

6“Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe oligabira abantu bano ensi gye nasuubiza edda bajjajjaabwe.

7Ddamu amaanyi era beera muzira, byonna byʼokola obyesigamye ku mateeka omuweereza wange Musa ge yakulagira; togaviirangako ddala, oleme okukyama ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono olyoke obenga omuwanguzi buli gyʼonoogendanga.

8Ekitabo kino ekyʼamateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana nʼekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bwʼotyo bwʼoneefunira obuwanguzi nʼokukulaakulana.

9Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gyʼonoogendanga.”

10Bwʼatyo ne Yoswa nʼalagira abakulembeze bʼAbayisirayiri nti,

11“Muyite mu lusiisira lwonna nga mutegeeza abantu bonna nti, ‘Mwesibire entanda kubanga mu nnaku ssatu mulisomoka omugga guno Yoludaani mulyoke mugabane ensi Mukama Katonda wammwe gyʼabawa.’”

12 Yoswa nʼagamba abʼekika kya Lewubeeni, nʼabʼekika kya Gaadi nʼekitundu kyʼekika kya Manase nti,

13“Mujjukire omuweereza wa Mukama Musa kye yabalagira ngʼagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawa ekifo ekyʼokuwummuliramu era alibawa ensi eno.’

14Bakazi bammwe, nʼabaana bammwe abato balisigala wano awamu nʼamagana gammwe mu kitundu kino Musa kye yabawa edda ebuvanjuba wʼomugga Yoludaani. Naye abasajja bammwe enkwatangabo nga bambalidde ebyokulwanyisa, bateekwa okubakulemberamu nʼokubalwanirira,

15okutuusa baganda bammwe abo nabo Mukama lwʼalibawa ensi eyo nʼabatebenkeza. Nʼoluvannyuma mulikomawo mu kitundu kino Musa omuweereza wa Mukama kye yabawa emitala wa Yoludaani okwolekera ebuvanjuba.”

16Awo ne baanukula Yoswa nti, “Byonna byʼotukalaatidde tunaabikola era tunaagenda yonna gyʼonootusindika.

17Nga bwe twagonderanga Musa mu byonna naawe bwe tunaakugonderanga tutyo; Mukama Katonda wo abeerenga naawe nga bwe yabeeranga ne Musa.

18Buli anaajeemeranga ebigambo byo nʼatabiwuliriza anattibwanga. Ddamu amaanyi, guma omwoyo.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>