1Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi bwe yawulira nga Yoswa awambye Ayi era ngʼakizikiririzza ddala nga bwe yakola Yeriko ne kabaka waayo, era bwe yawulira nti abantu bʼomu Gibyoni bakoze endagaano yʼemirembe nʼAbayisirayiri era nga kaakano babeera nabo,
2Adonizedeki nʼatya nnyo kubanga Gibyoni kyali kibuga gagadde ngʼebibuga bya bakabaka bwe byali, nga kisingira ddala Ayi ate nga nʼabasajja baamu bakirimaanyi.
3Bwʼatyo Adonizedeki kabaka wa Yerusaalemi nʼatumira bakabaka bano: Kokamu owʼe Kebbulooni, ne Piramu owʼe Yalamusi, ne Yafiya owʼe Lakisi ne Debiri owʼe Eguloni nʼabagamba nti,
4“Mujje munziruukirire tuzikirize ekibuga Gibyoni kubanga abantu baamu bakoze endagaano yʼemirembe ne Yoswa nʼAbayisirayiri.”
5Bwe batyo bakabaka abataano Abamoli, nʼowʼe Yerusaalemi, nʼowʼe Kebbulooni, nʼowʼe Yalamusi, nʼowʼe Lakisi nʼowe Eguloni ne beekobaana ne bayungula amaggye gaabwe ne bagakuluumulula ne balumba Gibyoni.
6Abasajja bʼomu Gibyoni ne batumira Yoswa mu lusiisira e Girugaali ne bamugamba nti, “Totulekulira basajja bo, yanguwako otudduukirire kubanga bakabaka bonna Abamoli ababeera eyo mu gasozi beekobaanye okututabaala.”
7Bwʼatyo Yoswa nʼava e Girugaali nʼabasajja be abalwanyi ba nnamige.
8Mukama nʼagamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga bonna mbagabudde mu mukono gwo, teri nʼomu ku bo anaalama.”
9Yoswa nʼabasajja be ne bakeesa obudde nga batambula okuva e Girugaali ne balyoka bagwa ku bʼAmoli ekiyiifuyiifu.
10Mukama nʼabaleetera okutya mu maaso gʼAbayisirayiri ne babatta olutta lunene nnyo e Gibyoni ne babafubutula okubambusa e Besukolooni, ne bagenda nga babatta okuyitira ddala e Azeka okutuuka e Makkeda.
11Bwe baali badduka Abayisirayiri nga bavuunuka Besukolooni, Mukama nʼabasuulako amayinja amanene agʼomuzira okutuukira ddala mu Azeka; abaafa omuzira ne baba bangi okusinga nʼabattibwa Abayisirayiri.
12Yoswa nʼagamba Mukama ku lunaku olwo Abayisirayiri lwe battirako Abamoli, nga nʼAbayisirayiri bonna bawulira nti,
13
14Tewali lunaku lwali lubadde nga luno, Mukama okuwulira omuntu obwenkaniddaawo; Mukama yalwanirira nnyo Isirayiri.
15Oluvannyuma lwʼebyo Yoswa nʼAbayisirayiri ne bakomawo ne basiisira e Girugaali.
16Bakabaka bali abataano ne badduka ne beekukuma mu mpuku e Makkeda.
17Ne bagamba Yoswa nti, “Bakabaka abataano bazuuliddwa, beekwese mu mpuku.”
18Yoswa nʼalagira nti, “Muyiringise agayinja aganene mugateeke ku mumwa gwʼempuku era mufuneeyo nʼabasajja bagikuume;
19naye mmwe abalwanyi temubeerawo wabula mugobe abalabe bammwe, temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe, kubanga ebyo Mukama Katonda wammwe abibawadde.”
20Awo Yoswa nʼAbayisirayiri bwe baamala okutta abalabe baabwe olutta ssinziggu olubamalirawo ddala, abo abaali basigaddewo baddukira mu bibuga ebiriko ebigo,
21olwo abantu bonna ne bakomawo mirembe eri Yoswa mu lusiisira e Girugaali. Teri muntu yaddayo kwogerera Bayisirayiri mafuukuule.
22Oluvannyuma Yoswa nʼabagamba nti, “Mugguleewo omumwa gwʼempuku mundeetere bakabaka abo abataano.”
23Ne bakola nga bwalagidde ne bamuleetera kabaka wʼe Yerusaalemi, nʼowʼe Kebbulooni, nʼowʼe Yalamusi, nʼowʼe Lakisi nʼowʼe Eguloni.
24Bwe baabamuleetera, Yoswa nʼakoowoola Abayisirayiri bonna, nʼalagira abaduumizi bʼeggye abaali naye nti, “Musembere wano kumpi, mulinnye ku nsingo za bakabaka bano.” Nabo ne basembera kumpi ne bakola nga bwʼabalagidde.
25Yoswa nʼabagamba nti, “Temutya wadde okuterebuka, mube nʼamaanyi era nʼobuvumu kubanga eno yʼengeri Mukama gyʼanaakola abalabe bammwe be mulwana nabo.”
26Yoswa bwe yamala okwogera ebyo nʼaddira bakabaka bali nʼabatta, emirambo gyabwe nʼagiwanika buli gumu ku muti okutuusiza ddala akawungeezi.
27Enjuba bwe yamala okugwa Yoswa nʼalagira emirambo ne giwanulwa ku miti ne gisuulibwa mu mpuku bakabaka bano mwe basooka okwekukuma, ne bayiringisa agayinja aganene ne bagasaanikira ku mumwa gwʼempuku nʼokutuusa kaakano amayinja ago gakyaliko.
28Ku lunaku olwo Yoswa nʼalumba Makkeda nʼakizikiriza ne kabaka waayo nʼamuttisa obwogi bwʼekitala, abaayo bonna nʼabazikiriza, kye yakola kabaka wʼe Yeriko era kye yakola nʼowʼe Makkeda.
29Yoswa nʼAbayisirayiri bonna ne bava e Makkeda, ne bagenda e Libuna ne bakizinda,
30era nakyo Mukama nʼakibawanguza, nʼatta abaakirimu bonna nʼobwogi bwʼekitala, tewali nʼomu gwe yalekawo. Kye yakola kabaka we Yeriko era kye yakola nʼowʼe Libuna.
31Yoswa nʼAbayisirayiri ne bava e Libuna ne bazinda Lakisi, ne bakyetooloola ne bakikuba.
32Ku lunaku olwokubiri Mukama nʼakibawanguza, ne bazikiriza nʼekitala buli muntu yenna eyakirimu era nga bwe baakola e Libuna.
33Kolamu kabaka wʼe Gezeri nʼagezaako okudduukirira Lakisi oyo naye Yoswa nʼamutta era nʼatalekaawo yadde nʼomu ku bantu be.
34Yoswa nʼAbayisirayiri bonna bwe baava e Lakisi ne bagenda e Eguloni, ne bakyetooloola kyonna ne bakikuba.
35Ku lunaku olwo lwennyini ne bazikiriza nʼobwogi bwʼekitala buli eyakirimu nga bwe baakola Lakisi.
36Yoswa nʼAbayisirayiri bonna ne bava mu Eguloni ne bazinda Kebbulooni,
37ne bakikuba; ne bazikiriza nʼekitala abantu baayo bonna era ne kabaka waabwe nʼobubuga bwamu bwonna nga bwe baakola mu Eguloni.
38Yoswa nʼAbayisirayiri bonna ate ne bawetamu ne baddayo e Debiri ne bakikuba.
39Ne bakiwamba ne bazikiriza nʼekitala kabaka waakyo nʼabantu baakyo bonna nʼobubuga bwakyo bwonna, era nga bwe baakola e Kebbulooni ne Libuna bwe baakola ne Debiri.
40Bwʼatyo Yoswa nʼawangula ensi eyo yonna eyʼagasozi, nʼebiwonvu, nʼensenyi ne bakabaka baayo bonna, tewali kiramu na kimu kye yaleka nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira.
41Yoswa nʼawangulira ddala okuva e Kadesubanea okutuuka e Gaaza mu nsi yonna eyʼe Goseni
42Nʼawamba bakabaka bano bonna nʼensi zaabwe mu lulumba lumu lwokka kubanga Mukama Katonda wa Isirayiri yalwanirira Isirayiri.
43Awo Yoswa nʼAbayisirayiri bonna ne bakomawo mu lusiisira e Girugaali.