1Awo Yabini kabaka wʼe Kazoli bwe yakimanya, nʼatumya Yobabu kabaka wʼe Madoni nʼeri kabaka wʼe Simuloni nʼeri kabaka wʼe Akusafu,
2ne bakabaka abaali mu bukiikakkono mu nsi eyʼensozi, ne mu Alaba mu bukiikaddyo e Kinnerosi, ne mu nsenyi, ne mu nsozi ezʼe Doli ku luuyi olwʼebugwanjuba.
3Nʼatumya Abakanani e buvanjuba nʼebugwanjuba, nʼAbamoli, nʼAbakiiti nʼAbaperezi, nʼAbayebusi mu nsi eyʼensozi, nʼAbakiivi wansi wa Kerumooni mu nsi eyʼe Mizupa.
4Ne bajja, nʼamaggye gaabwe gonna, nga bangi nnyo nga bali ngʼomusenyu gwʼennyanja, era ne bajja nʼembalaasi nnyingi nnyo nʼamagaali mangi nnyo.
5Awo bakabaka bano bonna ne beegatta ne bakuba olusiisira olwa awamu ku nzizi ezʼe Meromu, balwanyise Isirayiri.
6Awo Mukama nʼagamba Yoswa nti, “Tobatya kubanga obudde nga bwe buti enkya nzija kubawaayo bonna eri Isirayiri, bafumitibwe, battibwe, embalaasi muziteme enteega nʼamagaali gookebwe.”
7Awo Yoswa nʼabalwanyi be bonna ne balumba abalabe ku nzizi ezʼe Meromu.
8Mukama nʼabawaayo mu mukono gwa Isirayiri ne babawangula ne babagobera ddala, okubatuusa mu Sidoni ekinene ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu kye Mizupa ebuvanjuba, ne babazikiririza ddala obutalekaawo nʼomu.
9Yoswa nʼabakolako nga Mukama bwe yamulagira, embalaasi zaabwe nazitema enteega, nʼamagaali gaabwe nʼagookya omuliro.
10Mu kiseera ekyo Yoswa nʼaddako emabega nʼawamba Kazoli, kabaka waakyo nʼamutta nʼekitala kubanga emabegako Kazoli kye kyali ekitebe kyʼobwakabaka obwo bwonna.
11Era ne batta buli muntu yenna eyakirimu ne watasigalawo nʼomu ne Kazoli nʼakyokya omuliro.
12Yoswa nʼawamba ebibuga ebyo byonna ne bakabaka baabyo, nʼabatta nʼebitala nʼabazikiririza ddala nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira.
13Okuggyako Kazoli, ebibuga ebirala byonna ebyali bizimbiddwa ku bifunvu, Yoswa teyabyokya.
14Abaana ba Isirayiri ne beetwalira omunyago gwonna ogwʼebibuga bino nʼente, era ne batta buli muntu yenna ne babazikiriza awatali kusigala nʼomu assa omukka.
15Nga Mukama bwe yalagira omuddu we Musa, bwʼatyo Musa bwe yalagira Yoswa era ne Yoswa bwe yakola; talina kye yaleka takoze ku byonna Mukama bye yalagira Musa.
16Bwʼatyo Yoswa nʼawangula ensi yonna, nʼensi eyʼensozi nʼeyʼobugwanjuba yonna, nʼekitundu kya Goseni kyonna, ensi eyʼensenyi ne Alaba, nʼensi yaayo yonna eyʼensenyi.
17Okuva ku lusozi Kalaki, okulinnya okutuuka e Seyiri, nʼokutuuka ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi wʼolusozi Kerumooni ne bakabaka baayo bonna nʼabawamba, nʼabafumita, nʼabatta.
18Yoswa nʼalumba nʼalwana ne bakabaka abo bonna okumala ebbanga.
19Tewali kibuga kyakola ndagaano ya mirembe nʼabaana ba Isirayiri okuggyako Abakiivi abaali mu Gibyoni; byonna baabilwanyisa ne babiwangula,
20
21Mu kiseera ekyo Yoswa nʼagenda nʼazikiriza nʼamalawo Abanaki mu nsi eyʼensozi, mu Kebbulooni, ne mu Debiri, ne mu Anabi, ne mu nsi yonna eyʼensozi eya Yuda, ne mu nsi yonna eyʼensozi eya Isirayiri. Yoswa nʼabazikiririza ddala, bonna nʼebibuga byabwe.
22Tewali Banaki baasigalawo mu nsi yʼabaana ba Isirayiri, okuggyako mu Gaza, ne mu Gaasi, ne mu Asudodi, mwe mwasigalako abamu.
23Yoswa bwʼatyo bwe yatwala ensi yonna nga Mukama bwe yalagira Musa, nʼagiwa abaana ba Isirayiri okuba omugabo nga bwe yayawulibwa mu bika byabwe. Olwo ensi nʼewummula entalo.