1
2Sikoni kabaka wʼAbamoli eyafuga mu Kesuboni, okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali gʼekiwonvu ekya Alunoni, nʼekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, nʼekitundu ekya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yabboki, yʼensalo yʼabaana ba Amoni; kino ngʼogasseeko nʼekitundu Gireyaadi,
3ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olwʼebuvanjuba, ne ku Nnyanja ya Araba yʼEnnyanja eyʼOmunnyo ku luuyi olwʼebuvanjuba mu kkubo eryʼe Besuyesimosi, ne ku luuyi olwʼobukiikaddyo wansi wʼolusozi Pisuga,
4ne ku nsalo ya Ogi kabaka wʼe Basani, omu ku baasembayo ku ba Balefa eyafuganga mu Asutaloosi ne mu Ederei.
5Era ye yali afuga olusozi Kerumooni ne Saleka ne Basani yenna okutuuka ku nsalo eyʼAbagesuli, nʼAbamaakasi, nʼekitundu kya Gireyaali, ensalo ya Sikoni kabaka we Kesuboni.
6Musa omuweereza wa Mukama nʼabaana ba Isirayiri babawangula, era ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama nʼagiwa Abalewubeeni, nʼAbagaadi nʼekitundu kyʼekika kya Manase.
7Bano be bakabaka bʼensi, Yoswa nʼabaana ba Isirayiri be baawangula ku luuyi lwʼebugwanjuba olwa Yoludaani okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki okwambuka okutuuka e Seyiri. Yoswa yagiwa ebika bya Isirayiri bigigabane nga bwe byali byayawulwamu.
8Mu nsi eyʼensozi, ne mu nsi eyʼensenyi ne mu Alaba ne ku bitundu ebya wansi ku nsozi, ne mu ddungu ne mu nsi eyʼobugwanjuba mu Negevu, ensi ezʼAbakiiti, nʼAbamoli, nʼAbakanani, nʼAbaperezi, nʼOmukiivi, nʼOmuyebusi.
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24