Yoswa 13:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yoswa[9] bwe yali ngʼakaddiye ngʼamaze emyaka mingi. Mukama nʼamugamba nti, “Okaddiye omaze emyaka mingi naye, wakyaliwo ensi nnyingi nnyo ezʼokuwangula.

2“Zino zʼensi ezikyaliwo; ensi yonna eyʼAbafirisuuti nʼAbaseguli

3okuva ku mugga Sikoli oguli ebuvanjuba wa Misiri, nʼokwambukira ddala ku nsalo yʼe Ekuloni emanyiddwa nga eyʼAbakanani, eriyo abafuzi bataano abʼAbafirisuuti, owʼe Gaza, nʼowʼe Asudodi, nʼowʼe Asukulooni, nʼowʼe Gaasi nʼowʼe Ekuloni awamu nʼAbavi.

4Okuva mu bukiikaddyo ensi yonna eyʼAbakanani, ne Meyala ekya Basidoni, okutuuka ku Afiki, ku nsalo eyʼAbamoli,

5nʼensi yʼAbagebali, ne Lebanooni yonna, ne ku luuyi olwʼebuvanjuba, nʼokuva ku Baalugadi wansi wʼolusozi Kerumooni okutuuka wʼoyingirira e Kamasi.

6 “Nʼabantu bonna abʼomu nsozi za Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayima, be Basidoni bonna; nze kennyini ndibagoba mbaggye mu maaso gʼabaana ba Isirayiri. Kakasa nti ensi eno ogigabira abaana ba Isirayiri nga bwe nakulagira.

7Noolwekyo ojja kugigabanya ngʼomugabo eri ebika omwenda era nʼekitundu kyʼekika kya Manase.”

8Ekitundu ekirala ekya Manase, nʼAbalewubeeni nʼAbagaadi ne baweebwa omugabo gwabwe, Musa bwe yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olwʼebuvanjuba nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabagabira.

9Okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali gʼekiwonvu ekya Alunoni, nʼekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, nʼolusenyi lwonna olwa Medeba okutuuka ku Diboni;

10nʼebibuga byonna ebya Sikoni kabaka wʼAbamoli, eyafuga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo yʼabaana ba Amoni.

11Era kyatwaliramu Gireyaadi, nʼekitundu kyʼAbagesuli, nʼAbamaakasi, nʼolusozi lwonna Kerumooni ne Basani yonna okutuukira ddala ku Saleka.

12Obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyali afuga mu Asutaloosi ne mu Ederi, ye yali asigaddewo yekka ku Balefa, bwawangulwa Musa nʼatwala ensi yaabwe.

13Naye abaana ba Isirayiri tebaawangula Bagesuli wadde Abamaakasi, bwe kityo Abagesuli nʼAbamaakasi ne babeera wakati mu bo ne leero.

14 Ekika kya Leevi kyokka Musa kyʼataawa mugabo, ebiweebwayo ebyokebwa nʼomuliro eri Mukama Katonda wa Isirayiri, gwe mugabo gwe nga bwe yamugamba.

15Musa yagabira ekika kyʼabaana ba Lewubeeni ngʼenju zaabwe bwe zaali:

16Ensalo yaabwe ngʼeva ku Aloweri, ekiri ku mabbali gʼekiwonvu ekyʼAlunoni, nʼekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, nʼolusenyi lwonna oluliraanye Medeba,

17ne Kesuboni, nʼebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi, ne Diboni ne Bamosubaali, ne Besubaalumyoni;

18ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi;

19ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olwʼEkiwonvu,

20ne Besupyoli ne Pisuga awayambukirwa ku lusozi, ne Besuyesimosi,

21nʼebibuga byonna ebyʼomu lusenyi, nʼobwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka wʼAbamoli, eyafugira mu Kesuboni, Musa gwe yawangula awamu nʼabaami abaali bafuga abʼe Midiyaani, eri ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli ne Leba, nʼabalangira ba Sikoni abaabeeranga mu nsi.

22Era ne mu abo be batta nʼekitala, abaana ba Isirayiri battiramu nʼomulaguzi Balamu omwana wa Byoli.

23Era nʼensalo yʼabaana ba Lewubeeni yali omugga Yoludaani. Ebibuga nʼebyalo byamu Musa yabiwa abaana ba Lewubeeni okuba omugabo gwabwe.

24Musa yagabira ekika kya Gaadi omugabo ngʼenju zaabwe bwe zaali:

25Ettaka lyabwe lyali Yazeri, nʼebibuga byonna ebya Gireyaadi, nʼekitundu kyʼensi yʼabaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri okumpi ne Labba,

26nʼokuva e Kesuboni okutuuka ku Lamasumizupe, ne Betonimu, era nʼokuva ku Makanayimu okutuuka mu nsi yʼe Debiri,

27ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besunimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, nʼekitundu ekyasigalawo ekyobwakabaka bwa Sikoni kabaka owʼe Kesuboni, Yoludaani nʼensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lwʼennyanja eyʼe Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olwʼebuvanjuba.

28Eyo yʼensi eyafuuka omugabo gwʼabaana ba Gaadi ngʼenju zaabwe bwe zaali, ebibuga nʼebyalo byamu.

29Musa nʼawa ekitundu kyʼekika kya Manase omugabo gwabwe, abaana ba Manase ne bagabirwa omugabo ngʼenju zaabwe bwe zaali.

30Nʼensalo yaabwe ngʼeya Makanayimu, nʼeyita mu Basani nʼobwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka wʼe Basani, nʼebibuga ebya Yayiri, ebiri mu Basani ebibuga nkaaga;

31nʼekitundu ekimu ekya Gireyaadi ne Asutaloosi, ne Ederei, ebibuga ebyʼobwakabaka bwa Ogi mu Basani byali bya baana ba Makiri omwana wa Manase, ekitundu ekyʼabaana ba Makiri ngʼenju zaabwe bwe zaali.

32Ogwo gwe mugabo Musa gwe yagaba mu nsenyi eza Mowaabu, emitala wa Yoludaani ebuvanjuba bwa Yeriko.

33Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa mugabo. Mukama Katonda wa Isirayiri, ye mugabo gwabwe gwe yabawa, nga Mukama bwe yabagamba.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.