Yoswa 14:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1Bino byʼebitundu Abayisirayiri bye baafuna ngʼomugabo mu nsi yʼe Kanani, Eriyazaali[10] kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuuni, nʼemitwe gyʼennyumba eza bakitaabwe ezʼebika byʼabaana ba Isirayiri bye baabagabira.

2 Emigabo baagifunanga nga bakuba kalulu nga Mukama bwe yalagira Musa olwʼebika omwenda nʼekitundu,

3kubanga Musa yali agabidde ebika ebibiri nʼekitundu omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani, naye Abaleevi bo teyabagabira;

4kubanga abaana ba Yusufu baali bafuuse ebika bibiri, Manase ne Efulayimu[11], bo Abaleevi ne bataweebwa mugabo gwonna mu nsi, wabula ebibuga byokka ebyʼokubeeramu, nʼensiko eyʼokulundiramu ebisibo byabwe nʼebintu byabwe.

5Abantu ba Isirayiri ne bagabana ensi nga Mukama bwe yalagira Musa.

6Abantu ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa e Girugaali, ne Kalebu omwana wa Yefune Omukenizi nʼamugamba nti, “Omanyi Mukama kye yayogera ne Musa omusajja wa Katonda e Kadesubanea ekikwata ku ggwe nange.

7Nalina emyaka amakumi ana, Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva e Kadesubanea okuketta ensi, era namuleteera ekigambo nga bwe kyali mu mutima gwange.

8Naye baganda bange be nnali nabo ne baleteera emitima gyʼabantu okuggwaamu amaanyi olwʼokutya, wabula nze nagoberera Mukama Katonda wange nʼomutima gwange gwonna.

9 Era Musa yandayirira nti, ‘Ensi ebigere byo kwe biririnnya, mugabo gwo nʼabaana bo emirembe gyonna, kubanga ogoberedde Mukama Katonda wange nʼomutima gwo gwonna.’

10“Era kaakano Mukama ampangaazizza nga bwe yayogera emyaka gino amakumi ana okuva lwe yakigamba Musa, nga Isirayiri etambula mu ddungu. Era laba kaakano ndi wa myaka kinaana!

11Nkyalina amaanyi leero nga ge nalina Musa bwe yantuma, amaanyi ge nnina leero galinga ge nalina mu kulwana, mu kufuluma ne mu kuyingira.

12Kale noolwekyo mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogera ku lunaku luli, kubanga wawulira ku olwo ngʼAbanaki kwe baali nʼebibuga ebinene ebiriko enkomera. Mukama nga ye mubeezi wange, nnaabagoba nga Mukama bwe yayogera.”

13Yoswa nʼamusabira omukisa nʼawa Kalebu omwana wa Yefune Omukenezi Kebbulooni okuba omugabo gwe.

14Olusozi Kebbulooni ne lufuuka lwa Kalebu mutabani wa Yefune ne leero, kubanga yagoberera ddala Mukama Katonda wa Isirayiri.

15Kebbulooni edda kyayitibwanga Kiriasualuba era Aluba ye yali omukulu asingayo mu Banaki.

15Olwo ensi nʼeryoka ewummula nʼetebaamu ntalo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.