Yoswa 16:1-10 LGCB2014 - Bible AI

1Nʼomugabo gwʼettaka lyʼabaana ba Yusufu ne guva ku Yoludaani awali Yeriko ku ludda olwʼebuvanjuba olwʼamazzi gʼe Yeriko, okutuuka mu ddungu, nʼerinnya okuva e Yeriko nʼeyita mu nsi eyʼensozi nʼetuuka e Beseri

2Nʼeyita e Beseri okutuuka e Eruzi nʼokuyita ku nsalo eyʼAbaluki mu Atalosi

3nʼokukka ku luuyi olwʼebugwanjuba ku nsalo eyʼAbayafuleti ku nsalo eyʼe Besukolooni ekyʼemmanga ku Gezeri nʼekoma ku nnyanja.

4Bwe batyo abaana ba Yusufu: Manase ne Efulayimu ne batwala omugabo gwabwe.

5Ettaka lyʼabaana ba Efulayimu ngʼenju zaabwe bwe zaali eno gye lyayitanga; ku luuyi olwʼebuvanjuba ku Atalosuaddali nʼokutuuka ku Besukolooni eyʼEkyengulu,

6ne yeeyongera ku nnyanja ne ku Mikumesasi mu bukiikakkono ne yeetooloola ku luuyi olwʼebuvanjuba ku Taanasi Siiro, nʼolwebuvanjuba olwʼe Yanoa,

7nʼekka ku Atalosi ne ku Naala nʼekwata ku Yeriko nʼetuuka ku Yoludaani.

8Nʼeva ku Tappua nʼeyita ku luuyi olwʼebugwanjuba nʼetuuka ku mugga Kana nʼekoma ku nnyanja. Bino bye bitundu ekika kyʼabaana ba Efulayimu bye baagabana ngʼenju zaabwe bwe zaali.

9Ku bino kwaliko ebibuga nʼebyalo byakwo byonna ebyaterekerwa abaana ba Efulayimu abaali mu kitundu kya Manase ebibuga byonna nʼebyalo byabwe.

10 Wabula tebaagoba Bakanani abaali mu Gezeri, baasigala wakati mu Efulayimu nʼokutuusa leero nga balimu ngʼabaddu nga bakola.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.