1Omugabo ne guweebwa ekika kya Manase kubanga ye yali omubereberye owa Yusufu. Makiri omubereberye wa Manase era kitaawe wa Gireyaadi yaweebwa Gireyaadi ne Basani, era yali mulwanyi muzira.
2Era emigabo ne giweeba abaana ba Manase abalala nga bwe baali bazaalibwa mu buli maka. Omugabo gwʼabaana ba Abiezeri, nʼogwʼabaana ba Kerika nʼabaana ba Asuliyeri nʼogwʼabaana ba Sekemu, nʼogwʼabaana ba Keferi, nʼogwʼabaana ba Semida be baana bonna aboobulenzi aba Manase omwana wa Yusufu ngʼamaka mwe baazaalibwa bwe gaali.
3Naye Zerofekadi mutabani wa Keferi mutabani wa Gireyaadi mutabani wa Manase teyazaala baana balenzi wabula bawala bokka era baali bayitibwa Maala ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza.
4Bano baagenda eri Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni nʼabakulu ne babagamba nti, “Mukama yalagira Musa okutuwa omugabo nga baganda baffe.” Yoswa kyeyava abawa ettaka nga Mukama bwe yalagira. Yabawa omugabo mu baganda bakitaabwe.
5Bwʼatyo Manase nʼafuna ebitundu kkumi ngʼoggyeko ensi ya Gireyaadi ne Basani ebiri emitala wa Yoludaani,
6kubanga abaana ba Manase abawala baafuna omugabo ngʼabaana be abalenzi. Ensi ya Gireyaadi yaweebwa abaana ba Manase abaali basigaddewo ne bagitwala.
7Nʼensalo ya Manase yava ku Aseri nʼetuuka ku Mikumesasi ebuvanjuba bwa Sekemu, nʼeyita ku bukiikaddyo nʼekka nʼetwaliramu abantu abaali mu Entappua.
8Ensi ya Tappua Manase nʼagitwala wabula Tappua ekibuga ekyali ku nsalo ya Manase abaana ba Efulayimu be baakigabana.
9Ensalo nʼekka nʼetuuka ku kagga Kana ku luuyi mu bukiikakkono obwʼomugga. Bino bye bibuga bya Efulayimu ebiri mu bibuga bya Manase, naye ensalo ya Manase yali mu bukiikakkono obwa kagga nʼekoma ku nnyanja.
10Efulayimu nʼatwala oluuyi olwʼomu bukiikaddyo ne Manase nʼatwala oluuyi olwʼomu bukiikakkono nʼensalo ye nʼekoma ku nnyanja mu bukiikakkono nʼetuuka ku Aseri ate ebuvanjuba nʼetuuka ku Isakaali.
11Mu nsi ya Isakaali nʼeya Aseri, Manase nʼatwala Besuseani nʼebibuga byakyo ne Ibuleamu nʼebibuga byakyo nʼabaali mu Endoli nʼebibuga byakyo nʼabaali mu Doli nʼabaali mu Taanaki nʼebibuga byakyo, nʼabaali mu Megiddo nʼebibuga byakyo zʼensozi essatu.
12
13Naye abaana ba Isirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bafuula Abakanani abaddu baabwe abʼokubakozesanga emirimu, ne batabeegoberako ddala.
14Abaana ba Yusufu
15Yoswa nʼabagamba nti, “Obanga muli kika kinene mugende mu nsi yʼAbaperezi nʼeyʼAbalefa mwesaayire ekibira, ensi eyʼensozi eya Efulayimu nga bwe tebamala.”
16Abaana ba Yusufu ne bagamba nti, “Ensi eyʼensozi tetumala; ate nga Abakanani bonna abali mu nsi eyʼekiwonvu nʼabali mu Besuseani nʼebibuga byakyo era nʼabali mu kiwonvu ekyʼe Yezuleeri balina amagaali agʼebyuma.”
17Yoswa nʼayogera eri ennyumba ya Yusufu, nʼeya Efulayimu nʼeya Manase nti, “Muli kika kinene era mulina amaanyi mangi temuliba na mugabo gumu gwokka,
18naye ensi eyʼensozi eribeera yammwe, newaakubadde nga ya kibira mulikisaawa okutuuka gye kikoma, kubanga muligobamu Abakanani newaakubadde nga balina amagaali agʼebyuma era nga baamaanyi.”