1Ekibiina kyonna ekyʼabaana ba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu Siiro
2wabula waali wakyaliwo ebika musanvu ebya Isirayiri ebyali tebinnafuna mugabo gwabyo.
3Yoswa nʼagamba abaana ba Isirayiri nti, “Mulituusa ddi okulinda nga temunnafuna mugabo Mukama Katonda wa bajjajjammwe gwe yabawa?
4Mulonde abantu basatu mu buli kika mbatume bayite mu nsi bagyetegereze, ngʼemigabo gyabwe bwe giri era bawandiike ngʼemigabo gyabwe bwe giri bakomewo bantegeeze.
5Baligigabanyaamu ebitundu musanvu Yuda esigale mu bitundu byayo mu bukiikaddyo nʼennyumba ya Yusufu mu bitundu byayo mu bukiikakkono.
6Nga mumaze okugabanya ensi mu bitundu musanvu mundeetere bye muwandiise mbakubire obululu mu maaso ga Mukama Katonda waffe.
7Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe kubanga obwakabona bwa Mukama gwe mugabo gwabwe, ne Gaadi, ne Lewubeeni nʼekitundu ekyʼekika kya Manase bo baamala okuweebwa omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olwʼebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama gwe yabawa.”
8Abantu ne bagenda okulaba ensi bwʼefaanana, Yoswa nʼalagira be baali batumye nti, “Mugende mutambuletambule mu nsi mugyetegereze bwʼefaanana, mukomewo mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama e Siiro.”
9Awo ne bagenda ne bayita mu nsi, ne bawandiika ebitundu musanvu ebifa ku bibuga mu kitabo, ne bakomawo ewa Yoswa mu lusiisira e Siiro.
10Awo Yoswa nʼabakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama nʼagabanyiza abaana ba Isirayiri ensi ngʼebitundu byabwe bwe byali.
11Awo akalulu kʼekika kya Benyamini, okusinziira ku nnyumba mwe bazaalibwa, ne katuuka era omugabo gwe baafuna ne guba mu makkati gʼabaana ba Yuda nʼabaana ba Yusufu.
12Ku luuyi olwʼobukiikakkono ensalo yaabwe ne tandikira ku Yoludaani ne yeeyongera ku njegoyego zʼobukiikakkono bwa Yeriko nʼeyambuka mu nsi eyʼensozi ebugwanjuba nʼekomekkereza mu ddungu lyʼe Besaveni.
13Ensalo nʼesala okuva mu bukiikaddyo nʼetuuka e Luzi ye Beseri ne yeeyongera mu bukiikaddyo e Atalosuaddali kumpi nʼolusozi oluli wammanga mu bukiikaddyo obwa Besukolooni.
14Ensalo ne yeeyongerayo okuva ku lusozi olutunuulidde Besukolooni nʼeraga ku bukiikaddyo nʼedda ebuvanjuba nʼetuuka e Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, kye kibuga kyʼabaana ba Yuda. Olwo lwe luuyi olwʼebugwanjuba.
15Oluuyi olwʼobukiikaddyo lwatandikira ku njegoyego za Kiriyasuyalimu gye kikoma nʼedda ebuvanjuba, ensalo ne yeeyongerayo ku nsulo ezʼamazzi aga Nefutoa.
16Ate era ensalo nʼekkirira olusozi we lukoma, olutunudde mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri mu bukiikakkono lwʼekiwonvu kya Lefa, nʼekkirira mu kiwonvu kya Kinomu ekiri mu bukiikaddyo bwʼekibuga Yebusi, nʼekka ku Enerogeri.
17Nʼeryoka yeebungulula ngʼeva mu bukiikakkono nʼetuuka ku Ensomesi ne yeeyongerayo e Gerirosi ekitunuulidde ekkubo eryambuka okugenda Adummiru nʼeyita nʼetuuka ku jjinja lya Bokani mutabani wa Lewubeeni,
18ne yeeyongerayo mu bukiikakkono ku luuyi lwa Besi Alaba okutuuka ku Alaba,
19ne yeeyongerayo mu bukiikakkono obwa Besukogula bwʼetyo ensalo nʼekoma ku bukiikakkono bwʼEnnyanja eyʼOmunnyo mu bukiikaddyo bwʼomugga Yoludaani. Eyo yʼensalo eyʼoku bukiikaddyo.
20Yoludaani ye yali ensalo ku luuyi olwʼebuvanjuba. Guno gwe gwali omugabo gwʼekika kya Benyamini ngʼenju bwe zaali, ngʼensalo bwe zaali era ngʼenju zaabwe bwe zaali.
21Kale nno ebibuga byʼekika kyʼabaana ba Benyamini ngʼenju zaabwe bwe zaali byali:
22ne Besualaba ne Zemalayimu ne Beseri,
23ne Avvimu ne Pala ne Ofula,
24ne Kefalamoni ne Ofuni ne Geba ebibuga kkumi na bibiri nʼebyalo byabyo.
25Gibyoni ne Laama ne Beerosi,
26ne Mizupe ne Kefira ne Moza,
27ne Lekemu ne Irupeeri ne Talala,
28ne Zeera, Erefu nʼOmuyebusi, ye Yerusaalemi, ne Gibeasi ne Kiriasi ebibuga kkumi na bina nʼebyalo byabyo, ogwo gwe gwali omugabo ogwʼabaana ba Benyamini ngʼenju zaabwe bwe zaali.