Yoswa 19:1-51 LGCB2014 - Bible AI

1Nʼakalulu akookubiri kaagwa ku Simyoni, kye kika kyʼabaana ba Simyoni ngʼennyumba zaabwe bwe zaali nʼomugabo gwabwe bwe gwali mu makkati gʼomugabo gwʼekika kya Yuda.

2 Kyali kitwaliramu

2Beeruseba, oba Seba, ne Molada,

3ne Kazalusuali ne Bala, ne Ezemu,

4ne Erutoladi ne Besuli, ne Koluma,

5ne Zikulagi ne Besumalukabosi, ne Kazalususa

6ne Besulebaosi ne Salukeni ebibuga kkumi na bisatu nʼebyalo byabyo.

7Ayini ne Limmoni ne Eseri, ne Asani ebibuga bina nʼebyalo byabyo,

8nʼebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, ye Laama ekiri mu bukiikaddyo.

8Ebyo bye bitundu abaana ba Simyoni bye baagabana ngʼennyumba zaabwe bwe zaali.

9Ettaka abaana ba Simyoni lye baagabana lyali wamu nʼeryʼabaana ba Yuda. Kubanga omugabo gwʼabaana ba Yuda gwabasukkirira obunene; abaana ba Simyoni kyebaava bagabana wakati mu bitundu byʼomugabo gwabwe.

10Akakulu akookusatu ne kagwa ku kika kya Zebbulooni, ngʼennyumba zaabwe bwe zaali. Era nʼomugabo gwabwe ne gutuukira ddala ku Salidi.

11Ensalo yaabwe nʼeraga ku luuyi olwʼebugwanjuba nʼetuuka e Malala, nʼetuuka nʼe Dabbesesi; ngʼegendera ku kagga akali ku buvanjuba bwa Yokuneamu.

12Okuva ebuvanjuba wa Salidi ne yeeyongerayo enjuba gyʼeva ngʼegendera ku nsalo yʼe Kisulosutaboli, ne Daberasi, ne yeebalama Yafiya.

13Okuva eyo nʼedda ebuvanjuba e Gasukeferi, okudda e Esukazini; ne yeeyongerayo e Limmoni, nʼedda ku luuyi oluliko Nea.

14Ne yeebungulula mu bukiikakkono nʼetuuka ku Kannasoni nʼekoma mu Kiwonvu kya Ifutakeri;

15ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu[14], ebibuga kkumi na bibiri, nʼebyalo byabyo.

16Ogwo gwe mugabo gwʼabaana ba Zebbulooni ngʼennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo nʼebyalo byabyo.

17Akalulu akookuna ne kagwa ku Isakaali, lye zadde lya Isakaali ngʼennyumba zaabwe bwe zaali:

18Omugabo gwabwe gwalimu

18Yezuleeri ne Kesulosi ne Sunemu,

19ne Kafalaimu ne Sioni ne Anakalasi,

20ne Labbisi ne Kisioni ne Ebezi,

21ne Lemesi ne Engannimu ne Enkadda ne Besupazzezi,

22ensalo nʼekwata ku Taboli ne Sakazuma ne Besusemesi nʼekoma ku mugga Yoludaani. Ebibuga byonna awamu byali kkumi na mukaaga nʼebyalo byabyo.

23Ogwo gwe mugabo gwʼekika kyʼabaana ba Isakaali ngʼennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga nʼebyalo byabyo.

24Nʼakalulu akookutaano ne kagwa ku kika kyʼabaana ba Aseri ngʼennyumba zaabwe bwe zaali.

25Ekitundu kyabwe kyalimu

25Kerukasi ne Kali ne Beteni ne Akusafu,

26ne Alammereki ne Amadi ne Misali ne kituuka ku Kalumeeri ku luuyi olwʼebuvanjuba ne ku Sikolulibunasi,

27ne kidda ebuvanjuba ne kyeyongerayo ku Besudagoni ne kituuka ku Zebbulooni ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olwʼomu bukiikakkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri ne kikoma ku Kabuli mu bukiikakkono.

28 Ne kyeyongerayo ku Ebuloni ne Lekobu ne Kammoni ne Kana okutuuka ku Sidoni Ekinene.

29Ensalo nʼedda ku Laama nʼekibuga ekiriko ekigo ekya Tuulo ne kyeyongerayo e Kosa nʼeryoka ekoma ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu,

30ne Uma ne Afiki ne Lekobu byonna awamu ebibuga amakumi abiri nʼebyalo byabyo.

31Ogwo gwe gwali omugabo gwʼekika kyʼabaana ba Aseri ngʼennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga nʼebyalo byabyo.

32Akalulu akoomukaaga ne kagwa ku Nafutaali, be baana ba Nafutaali ngʼennyumba zaabwe bwe zaali.

33Nʼensalo yaabwe nʼeva ku mwera oguli mu Zaanannimu e Kerefu ne Adaminekebu ne Yabuneeri okutuuka ku Lakkumu nʼeryoka ekoma ku mugga Yoludaani.

34Nʼewetera ku luuyi olwʼebugwanjuba nʼetuuka ku Azunnosutaboli ne yeeyongerayo ku Kukkoki, ne yeeyongerayo e Zebbulooni mu bukiikaddyo, nʼekwata ku Aseri mu bugwanjuba, ne ku Yuda ekiri ku Yoludaani ebuvanjuba.

35Nʼebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, ne Zeri, ne Kammasi, ne Lakkasi, ne Kinneresi,

36ne Adama ne Laama ne Kazoli,

37ne Kasedi ne Edirei, ne Enkazoli,

38ne Ironi ne Migudaleri, ne Kolemu ne Besuanasi ne Besusemesi, ebibuga kkumi na mwenda nʼebyalo byabyo.

39Ogwo gwe gwali omugabo gwʼekika kyʼabaana ba Nafutaali ngʼennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga nʼebyalo byabyo.

40Akalulu akoomusanvu kaagwa ku kika kyʼabaana ba Ddaani ngʼennyumba zaabwe bwe zaali.

41Nʼekitundu kyʼomugabo gwabwe ne kitwaliramu

41Zola ne Esutaoli ne Irusemesi

42ne Saalabbini ne Ayalooni ne Isula

43ne Eroni ne Timuna ne Ekuloni

44ne Eruteke ne Gibbesoni ne Baalasi

45ne Yekudi ne Beneberaki ne Gasulimmoni

46ne Meyalakoni ne Lakoni nʼensalo etunuulidde Yafo.

47Naye abaana ba Ddaani baalina obuzibu okutwala omugabo gwabwe ne bagenda ne balumba Lesemu ne bakiwangula ne batta abantu baamu nʼekitala ne babeera omwo, ne bakituuma Ddaani lyʼerinnya lya jjajjaabwe.

48Ogwo gwe mugabo gwʼabaana ba Ddaani ngʼennyumba zaabwe bwe zaali.

49Nga bamaze okugabana ensi mu bitundu ebyʼenjawulo abaana ba Isirayiri ne bawa Yoswa mutabani wa Nuuni omugabo mu bo

50 ngʼekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne bamuwa ekibuga kye yasaba, Timunasusera mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu. Omwo mwe yazimba ekibuga mwe yabeera.

51Bino bye bitundu Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni nʼabakulu bʼebika bya Isirayiri bye bagabana okuyita mu kalulu e Siiro nga beebuuza ku Mukama mu mulyango gwa Weema eyʼOkusisinkanirangamu. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.