Yoswa 2:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo Yoswa mutabani wa Nuuni nʼatuma abasajja babiri okuva e Sittimu bagende mu kyama bakette, nʼabagamba nti, “Mugende mwekkaanye ensi eyo na ddala ekibuga Yeriko[2].” Bwe batyo ne bagenda. Bwe baatuukayo ne bayingira mu nnyumba yʼomukazi malaaya ayitibwa Lakabu ne basula omwo.

2Naye kabaka wa Yeriko nʼakitegeera nti waliwo abasajja Abayisirayiri abazze ekiro okuketta ensi ye.

3Bwʼatyo kabaka oyo nʼatumya ewa Lakabu nti, “Mu nju yo mulimu abasajja abazze okuketta ensi yange, bampeereze mangu.”

4Lakabu abasajja bano yali yamaze dda okubakweka, naye nʼalyoka agamba nti, “Kituufu abasajja abo baabaddeko wano naye saategedde gye baabadde bava.

5Oluggi lwʼekibuga bwe lwabadde lunaatera okuggalwawo akawungeezi, ne bafuluma, saategedde gye baalaze; naye mubawondere osanga munaabagwikiriza.”

6So nno yali yabakwese dda ku nju waggulu era nga ababisseeko bulungi ebikolokomba byʼobugoogwa.

7Basajja ba kabaka ne bafuluma ekibuga ne wankaaki waakyo naggalwawo. Ne banoonya abakessi okutuukira ddala ku mugga Yoludaani.

8Abakessi bwe baali tebanneebaka, Lakabu nʼayambuka gye baali ku nju waggulu

9nʼabagamba nti, “Nkimanyi nga Mukama abawadde ensi eno era nga ffenna tubatidde nnyo, tuweddemu nʼomwoyo.

10 Twawulira Mukama bwe yakaliza ennyanja emyufu nga muva e Misiri era twawulira bwe mwazikiriza Sikoni ne Ogi bakabaka bʼAbamoli emitala wʼomugga Yoludaani.

11Amangwago nga twakakiwulira emitima gyatutyemuka, era teri nʼomu ku ffe yasigalamu ndasi, kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wʼomu ggulu ne mu nsi.”

12Nʼabagamba nti, “Nga nange bwe mbakoledde ebyekisa, mbasaba nammwe munkolere bwe mutyo nga mulayira mu linnya lya Mukama era mumpe nʼobukakafu

13nga mulitutaliza; nze, ne kitange, ne mmange, ne baganda bange, ne bannyinaze awamu nʼabo bonna be babeera nabo.”

14Abasajja abo ne baddamu nti, “Bwʼotolituloopa, naffe tulibawonya Mukama ngʼatuwadde ensi eno; era Mukama atuzikirize bwe tutalikola bwe tutyo.”

15Olwʼokubanga ennyumba ya Lakabu yazimbwa ku bbugwe wʼekibuga, bwʼatyo nʼabasizza ku muguwa ngʼabayisa mu ddirisa.

16Yabagamba nti, “Mugende mwekwekere ennaku ssatu eyo mu nsozi okutuusa ngʼababawenja bamaze okudda, oluvannyuma muyinza okwetambulira amakubo gammwe.”

17Ne bamugamba nti, “Tujja kukuuma butiribiri ekirayiro kyaffe

18era bwe tulitabaala ensi yammwe, osibanga omuguwa guno omumyufu mu ddirisa mwe watuyisa era okuŋŋaanyizanga mu nnyumba yo, kitaawo, ne nnyoko, bannyoko nʼabʼomu nnyumba ya kitaawo bonna.

19Gwe kalitanda nʼafuluma mu nju yo nʼatambulatambula mu nguudo, ekirimutuukako kyonna yʼalimanya. Kyokka alituukibwako akabi konna mu nju yo, ogwo guliba musango gwaffe.

20Naye kʼolituloopa, olwo oliba omenye endagaano yaffe naawe.”

21Lakabu yʼabaddamu nʼabagamba nti, “Byonna bibeere nga bwe tukkaanyizza.” Bwe yamala okubasiibula nʼasiba akawero akamyufu mu ddirisa.

22Abakessi bwe baamala okwekwekera ennaku ssatu mu nsozi nga nʼababanoonya bababuliddwa,

23ne beddirayo eri Yoswa mutabani wa Nuuni ne bamuyitiramu mu byonna nga bwe byagenda.

24Ne bamugamba nti, “Ddala ensi eyo Mukama agituwadde, abantu baamu bonna tubakubye encukwe.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>