1Mukama Katonda nʼalyoka agamba Yoswa nti,
2“Gamba abaana ba Isirayiri bateekewo ebibuga ebyokwekwekamu nga bwe nabalagira okuyita mu Musa,
3era nti Omuntu yenna atta omulala nga tagenderedde era nga takitegese addukirenga omwo, eyo gyʼanaawoneranga omuwoolezi wʼeggwanga ayagala okwesasuza.
4“Annadukiranga mu kimu ku bibuga ebyo nʼayimirira ku mulyango gwʼekibuga annyonnyole ensonga ye eri abakadde bʼekibuga ekyo. Awo ne balyoka bamukkiriza okuyingira mu kibuga ne bamuwa ekifo ekyʼokubeeramu.
5Nʼoyo ayagala okwesasuza singa anaamugobereranga, tebateekwa kuwaayo oyo asse tagenderedde kubanga muliraanwa we yamutta tagenderedde, lwa kuba nti yamulinako ekiruyi nʼobukyayi.
6“Mu kibuga omwo mwanaabeeranga, abantu baamu banaawuliranga ensonga ye, era anaabeeranga omwo okutuusa kabona omukulu aliko mu kiseera ekyo, lwʼalifa. Olwo nno aliddayo ewaabwe mu kibuga gye yadduka.”
7Awo ne baawulako ebibuga bino: Kedesi mu Ggaliraaya mu nsi eyʼensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba, ye Kebbulooni mu nsi eyʼensozi eya Yuda.
8Nʼemitala wa Yoludaani ku Yeriko ku luuyi olwʼebuvanjuba ne bateekayo Bezeri mu lukoola mu lusenyi mu kika kya Lewubeeni, ne Lamosi mu Gireyaadi mu kika kya Gaadi, ne Golani mu Basani mu kika kya Manase.
9Ebyo bye bibuga ebyateekebwawo abaana ba Isirayiri bonna era ne bannaggwanga abaali mu bo nti omuntu yenna eyattanga omuntu nga tagenderedde addukire eyo aleme kuttibwa omuwoolezi wʼeggwanga okutuusa lwʼaliyimirira mu maaso gʼekibiina.