1Awo abakulira ennyumba mu kika kyʼAbaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona nʼeri Yoswa mutabani wa Nuuni nʼeri abakulu bʼennyumba zʼabaana ba Isirayiri
2e Siiro mu Kanani ne babagamba nti, “Mukama Katonda yalagira okuyita mu Musa nti Tuweebwe ebibuga ebyʼokubeeramu era nʼamalundiro gʼebisibo byaffe.”
3Kale, nga Mukama bwe yalagira, Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino nʼamalundiro nga gwe mugabo gwabwe.
4Akalulu ne kagwa ku nda ezʼAbakokasi. Bwe batyo Abaleevi abaali bava mu Alooni kabona ne bafuna ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini.
5Abakokasi abaali basigaddewo ne bafuna ebibuga kkumi okuva mu nnyumba, zʼebika bya Efulayimu, ne Ddaani nʼekitundu kyʼekika kya Manase.
6Nʼabaana ba Gerusoni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu nnyumba zino: eya Isakaali, nʼeya Aseri, nʼeya Nafutaali, nʼekitundu kyʼekika kya Manase mu Basani.
7Abaana ba Merali ne baweebwa ngʼennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga kkumi na bibiri nga biva mu bika bino: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Zebbulooni.
8Abaana ba Isirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino, nʼamalundiro gaabwe nga Mukama bwe yali alagidde okuyita mu Musa.
9Mu bika bya Yuda ne Simyoni mwavaamu ebibuga bino:
10bye byaweebwa abaana ba Alooni mu nnyumba zʼAbakokasi mu kika kyʼAbaleevi kubanga akalulu be kasooka okugwako.
11Ne babawa Kiriasualuba (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki) era ekimanyiddwa nga Kebbulooni mu nsi eyʼensozi eya Yuda nʼebyalo byakyo ebikyetoolodde.
12Naye ennimiro zaakyo nʼebibuga byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune abitwale ngʼomugabo gwe.
13Abantu abaava mu Alooni eyali kabona ne baweebwa Kebbulooni, ebibuga ebyokwekwekamu abo ababa basse bantu bannaabwe, nʼamalundiro gaabyo ne Libuna nʼamalundiro gaakyo,
14ne Yattiri nʼamalundiro gaakyo ne Esutemoa nʼamalundiro gaakyo,
15ne Kaloni nʼamalundiro gaakyo ne Debiri nʼamalundiro gaakyo,
16ne Ayini nʼamalundiro gaakyo ne Yuda nʼamalundiro gaakyo ebibuga mwenda mu bika ebibiri.
17Ne mu kika kya Benyamini ne baweebwa Gibyoni, ne Geba
18ne Anasosi nʼamalundiro gaakyo, ne Alumoni nʼamalundiro gaakyo ne Alumoni nʼamalundiro gaakyo bye bibuga bina.
19Ebibuga byonna ebyʼabaana ba Alooni bakabona byali ebibuga kkumi na bisatu nʼamalundiro gaabyo.
20Eri Abakokasi
21Nʼaweebwa Sekemu nʼamalundiro gaakyo mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu ekibuga ekyʼokwekwekamu oyo asse, ne Gezeri nʼamalundiro gaakyo,
22ne Kizuzaimu nʼamalundiro gaakyo ne Besukolooni nʼamalundiro gaakyo,
23ne mu kika kya Ddaani, Eruteke nʼamalundiro gaakyo, Gibbesoni nʼamalundiro gaakyo,
24Ayalooni nʼamalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni nʼamalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
25Ne mu kitundu ekyʼekika kya Manase, Taanaki, nʼamalundiro gaakyo, ne Gasulimmoni nʼamalundiro gaakyo, bye bibuga bibiri.
26Ebibuga byonna ebyʼennyumba zʼabaana ba Kokasi abalala byali kkumi nʼamalundiro gaabyo.
27Nʼeri abaana ba Gerusoni ekimu ku kika kyʼAbaleevi,
28Ne mu kika kya Isakaali,
29Yalamusi nʼamalundiro gaakyo, ne Engannimu nʼamalundiro gaakyo, bye bibuga bina,
30ne mu kika kya Aseri,
31Kerukasi nʼamalundiro gaakyo, ne Lekobu nʼamalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
32Ne mu kika kya Nafutaali,
33Ebibuga byonna ebyʼAbagerusoni ngʼennyumba zaabwe bwe zaali, byali ebibuga kkumi na bisatu nʼamalundiro gaabyo.
34Abaleevi abaali basigaddewo abaana ba Merali ne baweebwa
35Dimuna nʼamalundiro gaakyo, Nakalali nʼamalundiro gaakyo, bye bibuga bina.
36Ne mu kika kya Lewubeeni,
37Kedemosi nʼamalundiro gaakyo, ne Mefaasi nʼamalundiro gaakyo bye bibuga bina.
38Ne mu kika kya Gaadi,
39Kesuboni nʼamalundiro gaakyo, Yazeri nʼamalundiro gaakyo awamu bye bibuga bina.
40Ebyo byonna byali byʼabaana ba Merali be Baleevi, abaali basigalidde ngʼennyumba zaabwe bwe zaali, bye bibuga kkumi na bibiri byonna awamu.
41Ebibuga byonna ebyali ku ttaka eryʼabaana ba Isirayiri byali amakumi ana mu munaana awamu nʼebyalo byabyo ebibiriraanye.
42Buli kimu ku bibuga bino kyalina ebyalo ebikyetoolodde; byonna ebibuga bwe byali.
43Bwʼatyo Mukama nʼawa Isirayiri ettaka lyonna nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, era bwe baamala okulifuna ne babeera omwo.
44Mukama nʼabawa emirembe ne bawummula ku buli luuyi nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, tewali mulabe waabwe nʼomu gwe bataawangula kubanga Mukama yali agabudde abalabe baabwe mu mukono gwabwe.
45Buli kintu kyonna ekirungi Mukama kye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri yakituukiriza. Byonna byatuukirira.