Yoswa 22:1-34 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yoswa nʼayita Abalewubeeni nʼAbagaadi nʼekitundu ekyʼekika kya Manase,

2nʼabagamba nti, “Mwekuumye ne mukola byonna Musa omuweereza wa Mukama Katonda bye yabalagira.

3Ebbanga lyonna nʼokutuusa leero temulekeredde baganda bammwe, mubadde beegendereza okukuuma ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe.

4Era kaakano Mukama Katonda wammwe awadde baganda bammwe emirembe nga bwe yabasuubiza. Noolwekyo muddeeyo mu maka gammwe mu nsi Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa ku luuyi luli olulala olwa Yoludaani.

5Wabula mwegendereze okukuumanga ebiragiro era nʼamateeka Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, okukuumanga ebiragiro bye, nʼokumunywererangako era nʼokumuweerezanga nʼomutima gwammwe gwonna era nʼemmeeme yammwe yonna.”

6Yoswa nʼalyoka abasabira omukisa nʼabasiibula ne baddayo mu maka gaabwe.

7Ekitundu ekimu ekyʼekika kya Manase, Musa yali akigabidde ettaka mu Basani, nʼekitundu ekirala ekyʼekika kya Manase ne baganda baabwe, Yoswa nʼakiwa ettaka ku luuyi olwʼebugwanjuba bwa Yoludaani. Yoswa nʼabawa omukisa nʼabasiibula baddeyo ewaabwe.

8Nʼabagamba nti, “Ente nnyingi, ne ffeeza, ne zaabu, nʼekikomo, nʼekyuma, era nʼengoye nnyingi bye munyaze ku balabe bammwe; mubigabaane ne baganda bammwe.”

9Awo Abalewubeeni nʼabaana ba Gaadi nʼekitundu ekyʼekika kya Manase nga bava mu baana ba Isirayiri mu Siiro ekiri mu nsi ya Kanani ne baddayo mu nsi yaabwe, mu Gireyaadi, gye baali bagabanye bo bennyini ngʼekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali okuyita mu Musa.

10Era bwe baatuuka mu kitundu ekiriraanye Yoludaani mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni nʼabaana ba Gaadi nʼekitundu ekyʼekika kya Manase, ne bazimba awo ekyoto, ekinene ddala.

11Wabula abantu ba Isirayiri bwe baawulira nti bazimbye ekyoto ku Yoludaani ku luuyi lwa Isirayiri,

12ekibiina kyonna ekya Isirayiri ne bakuŋŋaana e Siiro beetegekere olutalo babalumbe.

13Awo abaana ba Isirayiri ne batuma Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona eri Abalewubeeni, nʼAbagaadi, nʼekitundu kyʼekika kya Manase mu nsi ya Gireyaadi.

14Ne batumirako abakungu kkumi, omu omu omukulu wʼennyumba mu buli kika kya Isirayiri.

15Bwe bajja eri Abalewubeeni, nʼAbagaadi, nʼekibiina kyonna ekya Manase mu nsi ya Gireyaadi ne babagamba nti,

16“Ekibiina kyonna ekya Mukama bwe kiti bwe kigamba, ‘Muyinza mutya okukyama bwe muti okuva ku Mukama Katonda wa Isirayiri? Muyinza mutya okuva ku Mukama ne mwezimbira ekyoto ne mumujeemera awo?

17Ekibi kya Peoli tekyatumala, ate nga nʼokwerongoosa tubadde tetunnaba kwerongoosa kwemalako kibi ekyo, wadde kawumpuli yagwa ku kibiina kya Mukama Katonda,

18ate mmwe ne mulekeraawo okugoberera Mukama Katonda? Bwe munaajeemera Mukama leero, enkya ajja kunyiigira eggwanga lyonna erya Isirayiri.

19Obanga ensi gye mututte sinnongoofu, mujje eno eri ensi ya Mukama, weema ya Mukama gyʼeri, tugabane eno gye tuli; kye mutasaana kukola kwe kujeemera Mukama, oba okutufuula ffe abajeemu nga mwezimbira ekyoto ekitali kya Mukama Katonda waffe.

20Akani mutabani wa Zeera teyajeema bwe yatoola ku bintu Mukama bye yali yeerobozza, ekiruyi kya Mukama ne kijjira ekibiina kyonna ekya Isirayiri? Si ye yekka eyazikirira olwʼekibi kye.’”

21Abalewubeeni, nʼAbagaadi, nʼekitundu kyʼekika kya Manase ne balyoka baddamu abakulu bʼebika bya Isirayiri nti,

22“Mukama Katonda owʼAmaanyi, Mukama owʼAmaanyi! Ye amanyi, era Isirayiri akimanye! Bwe kiba nga kyabadde mu kwediima oba kujeemera Mukama, temutusonyiwa leero.

23Bwe tuba nga ekyatuzimbya ekyoto kwe kuva ku Mukama, tukiweereko ekiweebwayo ekyokebwa oba ekiweebwayo ekyobutta oba ssaddaaka ezʼebiweebwayo olwʼemirembe, Mukama Katonda yennyini atuvunaane.

24Nedda, twakikola mu kutya nti mu mirembe egijja abaana baffe balitubuuza nti, ‘Mukama Katonda wa Isirayiri mumumanyiiko ki?

25Kubanga Mukama yakola Yoludaani okubeera ensalo wakati wammwe naffe mmwe Abalewubeeni, nʼAbagaadi, temulina mugabo eri Mukama Katonda.’ Noolwekyo abaana bammwe bayinza okugaana abaana baffe okusinza Mukama Katonda.

26“Kyetwava tugamba nti, ‘Leka tuzimbe kaakano ekyoto ekitali kya kukozesa ku biweebwayo ebyokebwa, wadde ssaddaaka,’

27naye kibeere akabonero akʼobujulizi wakati waffe nammwe, era ne wakati we mirembe egirituddirira nti tugenda mu maaso ga Mukama Katonda ne tumusinza nʼebiweebwayo byaffe ebyokebwa ne ssaddaaka era nʼebiweebwayo olwʼemirembe si kulwa nga abaana bammwe bagamba abaana baffe mu biseera ebijja nti, ‘Temulina mugabo gwonna eri Mukama Katonda.’

28Kyetwava tugamba nti, ‘Bwe balitugamba batyo oba okugamba abaana baffe abaliddawo, tulibaddamu nti, “Mulabe ekifaananyi kye kyoto kya Mukama Katonda, bakitaffe kye baakola, si lwa biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka, naye okubeera omujulirwa wakati waffe nammwe.” ’

29Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama era nʼokumuvaako leero ne tutamugoberera nga tuzimba ekyoto ekyʼebiweebwayo ebyokebwa, oba ebiweebwayo ebyʼempeke, oba ssaddaaka, ekitali kyoto kya Mukama Katonda waffe ekiri mu maaso ga Ssanduuko yʼEndagaano ye!”

30Finekaasi kabona, nʼabakulu bʼebibiina byʼebika bya Isirayiri abaali naye bwe baawulira ebigambo Abalewubeeni, nʼAbagaadi nʼaba Manase bye bayogera, ne bibasanyusa nnyo.

31Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona nʼagamba Abalewubeeni nʼAbagaadi nʼabaana ba Manase nti, “Leero tutegedde nti Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temukoze kivve kino eri Mukama Katonda, kaakano abantu ba Isirayiri mubawonyezza omukono gwa Mukama Katonda.”

32Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, nʼabakulu bʼebika ne bava eri Abalewubeeni, nʼAbagaadi mu nsi ye Kanani, ne baddayo eri abantu ba Isirayiri ne bababuulira ebibaddeyo.

33Bye baayogera ne bisanyusa abantu ba Isirayiri ne bagulumiza Katonda ne bataddayo kwogera ku bya lutalo kubalumba, bazikirize ensi Abalewubeeni, nʼAbagaadi gye baali basenze.

34Abalewubeeni nʼAbagaadi ne batuuma ekyoto erinnya Mujulizi, ne bagamba nti, “Kubanga mujulizi eri ffe nti Mukama ye Katonda.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.