1Bwe waayitawo ekiseera, Mukama Katonda ngʼawadde Isirayiri emirembe mu njuyi zonna awaali abalabe, Yoswa ngʼakaddiye ngʼawangadde emyaka mingi,
2nʼayita Abayisirayiri bonna, abakadde baabwe nʼabakulembeze baabwe, abalamuzi nʼabakungu nʼabagamba nti, “Kaakano nkaddiye era mmaze emyaka mingi;
3mmwe bennyini mulabye byonna Mukama Katonda wammwe byakoze amawanga gano gonna ku lwammwe, kubanga Mukama Katonda wammwe yabalwaniridde.
4Mulabe, ngabidde ebika byammwe amawanga ago agabadde gakyasigadde, amawanga gonna ge namala okuwangula, okuva ku Yoludaani okutuuka ku nnyanja ennene ebugwanjuba.
5Mukama Katonda ajja kubagoba babaviire abasindiikirize okuva mu maaso gammwe mutwale ensi yaabwe nga Mukama Katonda wammwe bwe yabasuubiza.
6“Noolwekyo mwegendereze nnyo okukwata nʼokukola byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kya Musa ekyʼamateeka, obutakyama kukivaako kudda ku ddyo wadde ku kkono.
7Temwetabanga nʼamawanga gano agasigadde mu mmwe, wadde okwogera ku mannya ga bakatonda baabwe, okulayira mu mannya gaabwe okubaweereza wadde okubavuunamira.
8Naye munywerere ku Mukama Katonda wammwe nga bwe mukoze okutuusa leero.
9“Kubanga Mukama Katonda wammwe agobye amawanga amanene agʼamaanyi era nʼokutuusa kaakano teri nʼomu asobodde kubaziyiza.
10Omuntu omu ku mmwe agoba abantu lukumi, kubanga Mukama Katonda wammwe yaabalwanirira nga bwe yabasuubiza.
11Noolwekyo mwekuume, mwagale Mukama Katonda wammwe,
12kubanga bwe munaamuvaangako ne mwegattanga nʼabamawanga abaasigalawo abali mu mmwe, oba ne mufumbiriganwa ne mukolagananga nabo,
13mukitegeererewo nti Mukama Katonda wammwe tagenda kweyongera kubagobamu mawanga gano, naye ganaafuukanga emitego era enkonge gye muli, embooko ezinaabakubanga mu mbiriizi, nʼamaggwa aganaabafumitanga mu maaso gammwe okutuusa lwe mulizikirira mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gyʼabawadde.
14“Era kaakano nnaatera okukwata olugendo lwʼabantu bonna abʼoku nsi era mumanyi nʼemitima gyammwe nʼemmeeme yammwe mmwe mwenna nti, Tewali kintu kyonna kitatuukiridde Mukama Katonda wammwe kye yasuubiza ekibakwatako. Byonna bibakoleddwa, tewali na kimu kiremye.
15Naye ngʼebintu byonna ebirungi Mukama Katonda wammwe bye yabasuubiza nga bwe bibaweereddwa, bwʼatyo Mukama bwʼanaabatuusangako, ebibi byonna okutuusa ngʼabazikirizza okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gyʼabawadde.
16Bwe munaamenyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yabalagira, ne mugenda ne muweerezanga bakatonda abalala ne mubavuunamiranga, obusungu bwa Mukama bunaaboolekeranga, ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gyʼabawadde.”