1Awo Yoswa nʼakuŋŋaanya ebika byonna ebya Isirayiri e Sekemu, nʼayita abakadde ba Isirayiri nʼabakulembeze, abalamuzi era nʼabakungu ba Isirayiri ne bajja babeere mu maaso ga Mukama.
2Yoswa nʼagamba abantu bonna nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Edda ennyo bajjajjammwe nga mulimu ne Teera kitaawe wa Ibulayimu baabeeranga emitala wʼomugga Fulaati, gye basinzizanga bakatonda abalala.
3Ne ndyoka nziggya jjajjammwe Ibulayimu emitala wʼomugga, ne mmukulembera okumuyisa mu nsi ye Kanani, ne mmuwa Isaaka, ne mwongerako ezzadde.
4Isaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu. Esawu ne mmuwa ensi eyʼensozi eya Seyiri. Naye Yakobo nʼabaana be ne mbatwala e Misiri.
5“ ‘Natuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Abamisiri nʼebibonoobono bye nabakola, oluvannyuma abaana ba Yakobo nʼembaggyayo.
6Bwe naggya bajjajjammwe e Misiri mwatuuka ku Nnyanja Emyufu. Abamisiri abaali mu magaali, nʼabeebagadde embalaasi ne bawondera bajjajjammwe okutuuka ku Nnyanja Emyufu.
7Naye bajjajjammwe bwe baakaabirira Mukama Katonda abayambe, nateeka ekizikiza wakati wammwe nʼAbamisiri; Abamisiri nʼabayiwako ennyanja nʼebabuutikira. Amaaso gammwe ne galaba kye nakola Abamisiri; ne mutambulira mu ddungu okumala ebbanga ddene.
8“ ‘Nabaleeta mu nsi eyʼAbamoli, abaali emitala wa Yoludaani, ne babalwanyisa, ne mbagabula mu mukono gwammwe. Ne nzikiriza Abamoli okubamalawo mu maaso gammwe ensi yaabwe ne ngigabira mmwe.
9Balaki mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu, bwe yasituka okulwanyisa Isirayiri, nʼatumya Balamu mutabani wa Byoli abakolimire;
10naye Balamu saamuwuliriza, nʼabawa buwi mukisa emirundi nʼemirundi. Bwe ntyo ne mbanunula mu mukono gwe.
11“ ‘Ne musomoka omugga Yoludaani ne mutuuka e Yeriko. Abantu bʼomu Yeriko awamu nʼAbamoli, nʼAbaperezi, nʼAbakanani, nʼAbakiiti, nʼAbagirusi, nʼAbakiivi, nʼAbayebusi ne babalwanyisa naye ne mbagabula mu mukono gwammwe.
12Ne ntuma ennumba ezabakulembera ezagoba abalabe bammwe mu maaso gammwe, nga mwe muli bakabaka ababiri Abamoli; si mmwe mwakikola nʼekitala kyammwe wadde obusaale.
13Ne mbawa ensi gye mutaakolerera, ebibuga bye mutaazimba mwe mutudde kaakano, mulya ebibala byʼemizabbibu nʼemizeeyituuni bye mutaasimba.’
14“Noolwekyo kaakano mutye Mukama Katonda era mumuweereze mu bwesimbu era mu mazima, muggyeewo bakatonda babajjajjammwe be baawererezanga emitala wʼomugga ne mu Misiri, muweereze Mukama Katonda.
15Naye bwe muba temwagala kuweereza Mukama, mulondeewo leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda babajjajjammwe abaali emitala wʼomugga be baaweerezanga, oba bakatonda abʼAbamoli, bannannyini nsi mwe muli. Naye nze nʼennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda.”
16Abantu ne balyoka baddamu ne bagamba nti, “Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala.
17Mukama Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bajjajjaffe mu Misiri mu nsi eyʼobuddu, nʼakola ebyewuunyo ebyʼekitalo nga tulaba, nʼatukuuma mu kkubo lyonna ne mu mawanga gonna ge twayitamu.
18Mukama Katonda nʼagoba amawanga gonna mu maaso gaffe nga mwe muli Abamoli, abaali mu nsi. Naffe kyetunaava tuweerezanga Mukama Katonda, kubanga ye Katonda waffe.”
19Yoswa nʼagamba abantu nti, “Kizibu okuweereza Mukama, kubanga Katonda mutukuvu, Katonda wabuggya, taasonyiwenga bujeemu bwammwe newaakubadde ebibi byammwe.
20Obanga munaalekanga Mukama, ne muweerezanga bakatonda abalala, alibakyukira nʼabazikiriza nʼabamalawo ate nga bulijjo abadde abayisa bulungi.”
21Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Nedda, tunaweerezanga Mukama.”
22Yoswa nʼagamba abantu nti, “Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonzeewo kuweerezanga Mukama Katonda.” Ne boogera nti, “Tuli bajulirwa.”
23Nʼabagamba nti, “Kale muggyeewo bakatonda abalala abali wakati mu mmwe, era emitima gyammwe mugizze eri Mukama Katonda wa Isirayiri.”
24Abantu ne bagamba Yoswa nti, “Tujja kuweerezanga Mukama Katonda waffe era tujja kumugonderanga.”
25Awo Yoswa nʼakola endagaano nʼabantu ku lunaku olwo, nʼabakolera amateeka nʼebiragiro.
26Era nʼawandiika ebintu bino mu kitabo kyʼamateeka ekya Katonda, nʼatwala ejjinja eddene ennyo nʼaliteeka wansi wʼomwera ogwali mu kifo kya Mukama Katonda ekitukuvu.
27Yoswa nʼagamba abantu nti, “Mulabe ejjinja lino lijja kubeeranga omujulizi gye tuli, liwulidde ebigambo byonna Mukama Katonda bya tugambye. Era lijja kubeeranga omujulizi gye muli bwe mutaabeerenga beesigwa eri Katonda wammwe.”
28Yoswa nʼasindika abantu bagende, buli omu mu mugabo gwe.
29Oluvannyuma lwʼebyo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Mukama, nʼafa ngʼawezezza emyaka kikumi mu kkumi.
30
31Abayisirayiri ne baweereza Mukama ennaku zonna ezʼabakadde abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa era abaamanya emirimu gyonna Mukama Katonda gye yakolera Isirayiri.
32Nʼamagumba ga Yusufu, abaana ba Isirayiri ge baggya e Misiri ne bagaziika e Sekemu, mu kifo kyʼettaka Yakobo kye yagula ebitundu bya ffeeza kikumi ku batabani ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu ne liba omugabo gwʼabaana ba Yusufu.
33Eriyazaali mutabani wa Alooni naye nʼafa, nʼaziikibwa ku lusozi Gibea olwaweebwa Finekaasi mutabani we, mu nsi eyʼensozi eya Efulayimu.