Yoswa 3:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Mu makya ennyo Yoswa nʼAbayisirayiri bonna ne bagolokoka okuva e Sittimu, bwe baatuuka ku mugga Yoludaani ne basooka balindirira awo nga tebannagusomoka.

2Bwe waayitawo ennaku ssatu abakulembeze baabwe ne babayitaayitamu

3nga bwe babalagira nti, “Bwe munaalaba Essanduuko eyʼEndagaano ya Mukama Katonda wammwe, bakabona Abaleevi nga bagisitudde ne mulyoka muva mu kifo kino ne mugigoberera,

4kubanga lino ekkubo temuliyitangamu. Naye wakati wammwe nayo, mulekawo ebbanga nga lya fuuti enkumi ssatu muleme okugisemberera.”

5Awo Yoswa nʼagamba Abayisirayiri nti, “Mwetukuze kubanga enkya Mukama anaakola ebyamagero mu mmwe.”

6Ate Yoswa nʼagamba bakabona nti, “Musitule Essanduuko era mukulemberemu abantu babagoberere.” Bakabona nabo ne bakola nga Yoswa bwe yabalagira.

7Mukama nʼagamba Yoswa nti, “Olwa leero ŋŋenda okukugulumiza mu maaso gʼAbayisirayiri bonna balyoke bamanye nti nga bwe nnali ne Musa, era bwe ntyo bwe ndi naawe.

8Bwʼotyo onoolagira bakabona abasitula Essanduuko eyʼEndagaano nti bwe mutuuka ku mugga Yoludaani, muyimirire buyimirizi.”

9Yoswa nʼayita Abayisirayiri nti, “Musembere wano muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe.

10Olwa leero mugenda okutegeera nti Katonda omulamu ali mu mmwe, kubanga anaagobera ddala Abakanani, nʼAbakiiti, nʼAbakiivi, nʼAbaperezi, nʼAbagirugaasi, nʼAbamoli, nʼAbayebusi mmwe nga mulaba.

11Laba, Essanduuko eyʼEndagaano ya Mukama wʼensi zonna yʼeneebakulemberamu nga musomoka omugga guno Yoludaani.

12Kale nno mulonde abasajja kkumi na babiri okuva mu bika bya Isirayiri nga buli kika mulondamu omu omu:

13Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama wʼensi zonna, olunaalinnya ebigere byabwe mu mugga Yoludaani, amazzi agabadde gakulukuta gonna ganaayimirira ne geetuuma.”

14Awo Abayisirayiri ne basimbula weema zaabwe okusomoka Yoludaani nga bakulembeddwamu bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama.

15Omugga Yoludaani gwanjaala mu kiseera ekyʼamakungula kyonna. Mu kiseera ekyo bakabona abasitudde Essanduuko we baalinnyira ebigere byabwe ku Yoludaani.

16Amangwago amazzi agaali gakulukuta ne gayimirira ne geetuuma eri ewala okuliraana ekibuga Adamu ku ludda lwa Zaresaani. Nʼago agaali gaserengeta okweyiwa mu Araba Ennyanja eyʼOmunnyo ne gasalikako, abantu ne basomokera Yoludaani ku ttaka ekkalu, mu maaso ga Yeriko.

17Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama ne bayimirira wakati mu Yoludaani awatakyali mazzi okutuusa Abayisirayiri bonna lwe baasomoka.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>