1Awo Abayisirayiri bonna bwe baamala okusomoka omugga Yoludaani, Mukama nʼagamba Yoswa nti,
2“Yungula abasajja kkumi na babiri mu buli kika ngʼolondamu omu omu.”
3Obakuutire nti, “Mulonde amayinja kkumi nʼabiri nga mugaggya wakati mu mugga Yoludaani awo wennyini bakabona we balinnye ebigere byabwe, mugende nago okutuukira ddala we munaasula ekiro kino.”
4Yoswa nʼayita abasajja kkumi na babiri be yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, nʼabagamba nti,
5“Mukulembere maaso gʼEssanduuko ya Mukama Katonda wammwe era buli omu ku mmwe alonde ejjinja limu ngʼaliggya mu mugga guno Yoludaani alyetikke ku kibegabega kye.
6Kano kalyoke kababeerere akabonero gye muli era mu mirembe ejijja, abaana bammwe bwe balibabuuza amayinja gano kye gategeeza,
7mulibagamba nti Essanduuko yʼEndagaano ya Mukama bwe yali ngʼesomosebwa omugga Yoludaani, amazzi gaagwo ne geetuuma ngʼogusenge okutuusa Essanduuko bwe yamala okuyisibwawo. Kale amayinja gano, Abayisirayiri galibabeerera ekijjukizo emirembe gyonna.”
8Abasajja Abayisirayiri ne bakola nga Yoswa bwe yabakuutira, ne balonda amayinja kkumi nʼabiri nga bagaggya mu mugga Yoludaani ngʼomuwendo gwʼebika byʼAbayisirayiri bwe gwali. Ne bagasitula okugatuusiza ddala we baali bagenda okusula nga Mukama bwe yagamba Yoswa.
9Yoswa nʼasimba amayinja kkumi nʼabiri mu kifo bakabona abaasitula Essanduuko eyʼEndagaano we baalinnya era we gali ne kaakano.
10Bakabona abaasitula Essanduuko ne bayimirira wakati mu Yoludaani okutuusa nga Abayisirayiri bamaze okutuukiriza byonna Mukama bye yabalagira ngʼayita mu Musa ne Yoswa. Abantu bonna ne basomoka bunnambiro.
11Abantu bonna nga bamaze okusomoka, bakabona ne basomosa Essanduuko ya Mukama abantu bonna nga babayeegese amaaso.
12Awo abasajja abʼekika kya Lewubeeni, nʼekya Gaadi, nʼekitundu kyʼekika kya Manase ne basomoka ne bayita ku Bayisirayiri bonna nga babagalidde ebyokulwanyisa nga Musa bwe yabagamba,
13bonna abaali bambalidde ebyokulwanyisa baali emitwalo ngʼena, olwo ne boolekera eyali olutalo mu lusenyi lwʼe Yeriko.
14Ku lunaku olwo Mukama nʼagulumiza nnyo Yoswa mu maaso gʼAbayisirayiri bonna, ne bamussaamu ekitiibwa ennaku zonna ezʼobulamu bwe nga bwe baakolanga Musa.
15Awo Mukama nʼagamba Yoswa nti,
16“Lagira bakabona abasitula Essanduuko eyʼObujulirwa baveeyo mu mugga.”
17Bwʼatyo Yoswa nʼalagira bakabona nti, “Muveeyo mu mugga Yoludaani.”
18Bakabona abasitula Essanduuko eyʼEndagaano ya Mukama olwalinnya ebigere byabwe ku lukalu, amazzi gonna aga Yoludaani ne gakomawo mu kkubo lyago nʼokwanjaala ne ganjaala nga bulijjo.
19Bwe batyo Abayisirayiri ne basitula okuva ku Yoludaani ku lunaku olwʼekkumi mu mwezi ogwʼolubereberye ne batuuka e Girugaali ne basiisira awo kumpi nʼensalo eyʼebuvanjuba eya Yeriko.
20Amayinja ekkumi nʼabiri agaggibwa mu Yoludaani, Yoswa nʼagasimba mu Girugaali.
21Nʼagamba Abayisirayiri nti, “Abaana bammwe bwe balibabuuza amakulu gʼamayinja gano,
22mulibaddamu nti, ‘Abayisirayiri bwe baali banaatera okusomoka omugga Yoludaani,
23Mukama nʼakaliza omugga ogwo okutuusa nga bamaze okugusomoka ne kifaananako nga Mukama Katonda bwe yakola Ennyanja Emyufu.’
24Ebyo byabaawo abantu bʼomu nsi yonna bategeere ngʼomukono gwa Mukama gwa maanyi era nammwe mulyoke mutye Mukama Katonda wammwe emirembe gyonna.”