1Awo bakabaka ba abʼAmoli abaali emitala ebugwanjuba bwʼomugga Yoludaani, ne bakabaka bʼAbakanani abaliraanye ennyanja bwe baawulira nga Mukama yakaliza amazzi gʼomugga Yoludaani Abayisirayiri basobole okusomoka, ne batekemuka omwoyo olwʼAbayisirayiri.
2Mu kiseera ekyo Mukama nʼagamba Yoswa nti, “Weekolere obwambe obwʼamayinja amoogi, okomole abasajja bonna Abayisirayiri abatakomolwanga.”
3Bwʼatyo Yoswa nʼakola obwambe mu mayinja amoogi nʼakomolera abasajja Abayisirayiri ku lusozi oluyitibwa Gibeyakalaloosi.
4Ensonga Yoswa kyeyava abakomola yʼeno: abasajja Abayisirayiri abaava e Misiri nga mwe muli nʼabalwanyi bonna, baafiira mu ddungu.
5Abaava e Misiri bonna baali bamaze okukomolebwa, kyokka abaana baabwe abaazaalirwa mu ddungu tebaali bakomole.
6
7Kale mu bifo byabwe Mukama yazzaawo baana baabwe era abo Yoswa be yakomola kubanga tebaakomolerwa mu kkubo.
8Bonna nga bamaze okukomolwa tebaava mu weema zaabwe mu lusiisira, okutuusa nga bamaze okuwona.
9Mukama nʼagamba Yoswa nti, “Okuva olwa leero mbaggyeeko ekivume kyʼe Misiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Girugaali nʼokutuusa kaakano.
10
11Enkeera ne balya emmere eyʼomu nsi yʼe Kanani: emigaati egitali mizimbulukuse nʼempeke ensiike.
12Okuva ku lunaku olwo lwe baalya ku mmere yʼomu Kanani tebaddamu kufuna Maanu; olwo ne batandika kulyanga mmere ya mu nsi eyo.
13Awo Yoswa bwe yali anaatera okutuuka e Yeriko bwe yayimusa amaaso nʼalaba omusajja akutte ekitala ekisowole ngʼamwolekedde. Yoswa kyeyava amusemberera nʼamubuuza nti, “Oli ku ludda lwaffe oba ku lwa balabe baffe?” Ye nʼamuddamu nti,
14“Siriiko ludda. Nze mukulu wʼeggye lya Mukama era ntuuse.” Yoswa nʼagwa wansi, nʼavuunama nʼamusinza era nʼamubuuza nti, “Mukama wange, oŋŋamba ki omuddu wo?”
15Naye omukulu wʼeggye lya Mukama nʼamuddamu nti, “Yambulamu engatto zo kubanga ekifo kino mwʼoli kitukuvu.” Ne Yoswa naye nʼakola nga bwe yalagirwa.