Yoswa 6:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Ekibuga Yeriko kyali kigaddwawo ngʼenzigi zonna zisibiddwa be gulugulu olwʼokutya Abayisirayiri era nga tewali afuluma wadde ayingira.

2Mukama nʼagamba Yoswa nti, “Laba, Yeriko ne kabaka waakyo nʼabasajja baamu bakirimaanyi mbawaddeyo mu mukono gwammwe.

3Basajja bammwe abalwanyi bonna bajja ku kyetooloolanga omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga.

4Bakabona musanvu bajja kwambaliranga amakondeere agaakolebwa mu mayembe gʼendiga ennume, nga bakulembedde Essanduuko. Ku lunaku olwʼomusanvu balyetooloola ekibuga emirundi musanvu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe.

5Olunaawulira amakondeere nga gavuga, Abayisirayiri bonna baleekaanire waggulu era amangwago ekisenge kya bbugwe ekyetoolodde kineegonnomola wansi; amangwago Abayisirayiri bonna beefubitike ekibuga.”

6Bwʼatyo Yoswa mutabani wa Nuuni nʼayita bakabona nʼabagamba nti, “Musitule Essanduuko eyʼEndagaano ne bakabona musanvu bakulembere Essanduuko ya Mukama nga bambalidde amakondeere musanvu agaakolebwa mu mayembe gʼendiga ennume.”

7Nʼalagira Abayisirayiri nti, “Mweyongere mu maaso, mwetooloole ekibuga abalina ebyokulwanyisa nga bakulembeddemu Essanduuko ya Mukama.”

8Nga Yoswa bwe yabakalaatira, bwe batyo bakabona omusanvu ne bakulemberamu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe omusanvu ezaakolebwa mu mayembe gʼendiga eza sseddume, eno nga Essanduuko eyʼEndagaano ya Mukama bwʼebavaako emabega.

9Abasajja abambalidde ebyokulwanyisa ne bakulemberamu bakabona abʼamakondeere, olwo eggye eryʼemabega ne ligoberera Essanduuko ngʼeno amakondeere bwe ganyaanyaagira.

10Awo Yoswa nʼalagira Abayisirayiri nti, “Temuleekaana wadde okwogerera waggulu, mutambule kasirise okutuusa ku lunaku olwo lwe ndibalagira.”

11Bwʼetyo Essanduuko ya Mukama ne yeetooloozebwa ekibuga omulundi gumu olunaku olwo, ne beddirayo mu lusiisira lwabwe ne beebaka.

12Yoswa nʼakeera nnyo mu makya, ne bakabona ne basitula Essanduuko ya Mukama,

13ne bakabona omusanvu abafuuyi bʼamakondeere ne batambula, abalwanyi nga babakulembedde, eggye eryʼemabega lyo nga ligoberera Essanduuko ya Mukama, eno amakondeere nga bwe gafuuyibwa.

14Ku lunaku olwokubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira. Ne bakola bwe batyo okumala ennaku mukaaga.

15Ku lunaku olwʼomusanvu baakeera mu matulutulu ne beetooloola ekibuga nga bulijjo, kyokka olwo lwe lwali olunaku lwokka lwe baakyetooloola emirundi omusanvu.

16Ku mulundi ogwʼomusanvu nga bakabona bamaze okufuuwa amakondeere, Yoswa nʼalagira abantu nti, “Muleekaane kubanga Mukama abawadde ekibuga.

17Era ekibuga nʼebintu byamu byonna bya kuweebwayo eri Mukama bizikirizibwe okuggyako Lakabu yekka malaaya, oyo nʼabantu be baanaabeera nabo mu nju ye. Kubanga yakweka abakessi baffe be twasindikayo.

18Naye mmwe mwekuume ebyo ebiweereddwayo eri Mukama okuzikirizibwa muleme kubitwala kubanga kiyinza okuleetera Abayisirayiri bonna ekikolimo nʼokuzikirira.

19Kyokka ffeeza ne zaabu nʼebintu byonna ebyʼekikomo nʼebyʼekyuma bitukuvu eri Mukama era byakutereka mu ggwanika lya Mukama.”

20 Awo Abayisirayiri ne baleekaana nnyo, amakondeere bwe gaavuga. Amangu ennyo ngʼamakondeere gakavuga Abayisirayiri ne boogera nʼeddoboozi eryʼomwanguka, era ekisenge kya bbugwe ekyebunguludde ekibuga Yeriko ne kyegonnomola wansi. Awo ne bayingira ne bakiwamba.

21Ne bazikiriza byonna ebyakirimu, abasajja nʼabakazi, nʼabaana abato, nʼente, nʼendiga, byonna ne babizikiriza nʼekitala.

22Awo Yoswa nʼagamba abasajja ababiri abaatumibwa okuketta ensi eri nti, “Mugende muleete malaaya oli nʼabantu be bonna baali nabo nga bwe mwamusuubiza.”

23Bwe batyo abavubuka abo abakessi ne bagenda ne bakola nga bwe baalagirwa, ne baleeta Lakabu malaaya, ne kitaawe, ne nnyina, ne bannyina nʼabantu be bonna be yali nabo, ne babateeka ebweru wʼolusiisira lwʼAbayisirayiri.

24Awo ne balyoka bookya ekibuga ne bazikiriza byonna ebyakirimu okuggyako ffeeza, zaabu nʼebintu ebyʼekikomo nʼebyʼekyuma bye baggyamu ne babitereka mu ggwanika lyʼomu nnyumba ya Mukama.

25Yoswa nʼalekawo Lakabu malaaya nʼabʼennyumba ye era Lakabu nʼabeera mu Isirayiri nʼokutuusa kaakano kubanga yakweka abakessi Yoswa be yatuma okuketta ekibuga Yeriko.

26Yoswa nʼalayira nti,

26 “Akolimirwe mu maaso ga Mukama omuntu yenna alyaŋŋanga nate okuzimba ekibuga kino Yeriko. Bwʼalyaŋŋanga okuzimba omusingi gwakyo alifiirwa omwana we omubereberye. Ate era bwʼalyaŋŋanga okuwangamu enzigi zʼemiryango gyakyo, alifiirwa omwana we asembayo owoobulenzi.”

27Bwʼatyo Mukama nʼabeera ne Yoswa, era ettutumu lya Yoswa ne libuna ensi eyo yonna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>