1
2Yoswa nʼasindika abasajja okuva e Yeriko bagende mu kitundu kye Ayi okuliraana Besaveni ebuvanjuba wa Beseri, nʼabakuutira nti, “Mugende mukette ensi eyo.” Nabo ne bagenda ne baketta Ayi.
3Ne bakomawo ne bategeeza Yoswa nti, “Tosindika bantu bangi kulumba Ayi wabula weerezaayo abantu nga enkumi bbiri oba ssatu be baba balumba. Toweerezaayo bantu bonna kubanga abʼomu Ayi si bangi.”
4Abayisirayiri ngʼenkumi ssatu ne boolekera Ayi, kyokka abasajja be Ayi ne babafubutula emisinde
5okubaggya ku wankaaki wʼekibuga okubatuusiza ddala emitala wa Sebalimu era Abayisirayiri ngʼamakumi asatu mu mukaaga ne battibwa. Entiisa ne buutikira Abayisirayiri; emitima ne gibayenjebuka.
6Yoswa nʼabakulembeze bʼAbayisirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beesiiga enfuufu mu mitwe gyabwe era ne beeyala ku ttaka mu maaso gʼEssanduuko ya Mukama okuzibya obudde.
7Yoswa nʼagamba nti, “Mukama Katonda nga kitalo kino! Wasomosezaaki Abayisirayiri omugga Yoludaani ate nʼobaleka bazikirizibwe Abamoli? Bwe twali tukyali emitala wa Yoludaani tetwaliko kabi nʼakatono!
8Ayi Mukama, Isirayiri adduse abalabe baabwe, nze nnaayogera ki kaakano!
9Abakanani nʼabali mu kitundu ekyo kyonna bwe banaakiwulira bajja kutwebungulula batusaanyeewo. Olwo erinnya lyo ekkulu bwe lityo liriba terikyavuga.”
10Mukama nʼagamba Yoswa nti, “Golokoka. Kiki ekikuvuunamizza ku ttaka?
11Isirayiri eyonoonye kubanga bavudde ku ndagaano gye nabakuutira, ne batwala ku bintu ebiwonge, ne babitabika mu byabwe ate ne balimba.
12Ka mbabuulire, okuggyako nga muzikiriza omubi ali mu mmwe, Abayisirayiri tebayinza kwolekera balabe baabwe, babadduka buddusi, kubanga nsazeewo bazikirizibwe.
13“Golokoka otukuze abantu era obategeeze beetukuze nga beetegekera olwʼenkya bwʼatyo bwʼayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri. Waliwo ebikwekeddwa mu mmwe; okuggyako nga mubikwekula temuyinza kuwangula balabe bammwe.
14“ ‘Enkya mujjire mu bika byammwe, buli kika Mukama kyʼanaalondamu kinaasembera luggya ku luggya, nʼoluggya Mukama lwʼanaalondamu lunajja nju ku nju, era enju Mukama gyʼanaalondamu enejja muntu ku muntu.
15Naye oyo anaasangibwa nʼebintu ebiwonge anaayokebwa mu muliro ye nʼebyo byonna byʼalina, kubanga amenye endagaano ya Mukama nʼavumaganya Isirayiri.’ ”
16Yoswa yakeera nnyo nʼakuŋŋaanya ebika byonna, yasookera ku kika kya Yuda era nʼasembeza enju ya Yuda:
17nʼalondamu abo abazaalibwa Zeera, ate mu nju ya Zeera nʼalondamu Zabudi nʼennyumba ye:
18ate mu bo nʼalondamu Akani omwana wa Kalumi, muzzukulu wa Zabudi, muzzukulu wa Zeera owʼomu kika kya Yuda.
19Yoswa nʼagamba Akani nti, “Mwana wange njagala oweese Mukama Katonda wa Isirayiri ekitiibwa era omugulumizise, ombuulire kyʼokoze, tonkisa.”
20Akani nʼaddamu nti, “Mazima nayonoona eri Mukama Katonda wa Isirayiri era kino kye nakola.
21Bwe nalaba nga mu munyago mulimu ekyambalo ekirungi ekyava e Sinaali
22Yoswa nʼatuma ababaka mu weema ya Akani era ne babisangayo ngʼabisimidde mu ttaka.
23Ne babifulumya ne babireeta eri Yoswa nʼAbayisirayiri bonna, ne babissa mu maaso ga Mukama.
24Yoswa nʼAbayisirayiri bonna ne bakwata Akani muzzukulu wa Zeera ne bye yanyaga: effeeza, ne zaabu, nʼekyambalo. Ne bamutwala ne batabani be, ne bawala be, nʼente ze nʼendogoyi ze, nʼendiga ze, nʼeweema ye ne byonna bye yalina ne babiserengesa mu kiwonvu Akoli.
25Yoswa nʼabuuza Akani nti, “Lwaki watuleetera ensasagge eno? Nga bwe wakola bwʼotyo olwa leero naawe onookiraba Mukama kyʼanaakukola.”
26Ne balyoka babatuumako amayinja, nʼokutuusa kaakano entuumu yʼamayinja eyo gagadde ekyaliwo. Mukama nʼalekera awo okukambuwalira Abayisirayiri, ekiwonvu mwe babattira kyekyava kiyitibwa Akoli nʼokutuusa kaakano.