1Mukama nʼagamba Yoswa nti, “Totya era tokeŋŋentererwa, ddira abasajja bonna abalwanyi mulumbe ekibuga Ayi kubanga mbawadde obuwanguzi ku kyo. Kabaka, nʼabantu be, ne byonna ebiri mu kibuga Ayi mbibawadde.
2Ayi ne kabaka waakyo mu bayise nga bwe mwakola Yeriko, omunyago gwonna okuva mu Ayi ngubawadde. Mwekukume muteegere emabega wʼekibuga.”
3Yoswa nʼasituka nʼeggye lyonna okulumba Ayi, nʼalondamu abasajja abalwanyi abazira nnamige emitwalo esatu nʼabasindika kiro okulumba Ayi.
4Nʼabakuutira nti, “Mugende mwekukume kumpi nʼekibuga era muteegere abantu baamu emabega waakyo. Temugenda wala nakyo mwenna mube beetegefu.
5Nze nʼabalwanyi abalala tujja kwolekera ekibuga, bwe banaatufubutula ngʼolulala, tujja kuddukira ddala
6tubatwalirize ewala okuva ku kibuga, tubalowoozese nti, tubadduse. Ffe tujja kuddukira ddala tubabuleko.
7Olwo mulyoke mufubutuke gye mwekwese, muwambe ekibuga kubanga Mukama ajja kukibawa mukiwangule.
8Kasita mukiyingira nga mukikumako omuliro. Mukole nga Mukama bwʼalagidde. Ebyo bye mbakuutidde.”
9Yoswa nʼabasindika ne bagenda beekweka wakati wa Beseri ne Ayi ebugwanjuba wʼekibuga Ayi. Ekiro ekyo Yoswa yakimala nʼAbayisirayiri abalala.
10Yoswa yakeera nnyo mu makya ne yeekebejja abalwanyi be, oluvannyuma ye nʼabakulembeze bʼAbayisirayiri ne boolekera Ayi.
11Abasajja bonna abalwanyi ne basemberera ekibuga era ne bakuŋŋaanira mu maaso gʼekibuga Ayi mu bukiikakkono bwakyo, ngʼekiwonvu kye kibaawula.
12Yoswa nʼaddira abalwanyi ngʼenkumi ttaano ne bateegera wakati wa Beseri ne Ayi ebuvanjuba wʼekibuga.
13Ekibinja kyʼabalwanyi ekisinga obunene ne kikuŋŋaanira mu bukiikakkono wʼekibuga ate ekibinja ekizibizi ne kikuŋŋaanira ebugwanjuba wʼekibuga. Naye ye Yoswa ekiro ekyo yasula mu kiwonvu.
14Mu makya kabaka wa Ayi nʼabantu be olwalengera Abayisirayiri ne bafubutuka okugenda okubalwanyisa awo okwolekera Alaba, naye tebaamanya nti waaliwo Abayisirayiri abalala abaali babeekwekeredde emabega wʼekibuga.
15Yoswa nʼekibinja kyʼAbayisirayiri be yali nabo ne beefuula ngʼabawanguddwa ne badduka nga boolekedde eddungu.
16Abantu bonna abaali mu kibuga ne bakoowoolwa okugoba Abayisirayiri, ne babagobera ddala era ne babawereekereza wala nnyo nʼekibuga.
17Tewali musajja nʼomu yasigala mu Ayi oba Beseri, ekibuga kyonna baaleka kiggule nga bagenze okugoba Abayisirayiri.
18Mukama nʼagamba Yoswa nti, “Galula omuwunda gwo ngʼogwolekeza Ayi, kubanga ojja kukiwangula.” Bwʼatyo Yoswa nʼagalula omuwunda gwe eri Ayi.
19Amangwago ngʼagaludde omuwunda abaali beekwese ne bafubutukayo ne besogga ekibuga era amangwago ne bakikoleeza omuliro.
20Abasajja bʼomu Ayi bagenda okukebuka ngʼekibuga kyabwe kinyooka omukka nga tebakyasobola kudda mabega wadde okugenda mu maaso.
21Yoswa nʼabasajja be bwe baalaba nga bannaabwe beesozze ekibuga era ne bakyokya, kwe kukyukira abaali babagoba ne babatta ebitagambika.
22Abayisirayiri abaayokya ekibuga nabo ne bavaayo ne bafuumbikiriza abasajja bʼomu Ayi ne babatta obutalekaawo nʼomu.
23Naye ye kabaka wʼe Ayi baamuwamba ne bamuleetera Yoswa.
24Abayisirayiri bwe baamala okutta abantu bʼomu Ayi abaali babagoberedde mu ddungu, ne balyoka bakomawo mu kibuga kya Ayi ne batta abantu bonna abaakirimu.
25Abasajja nʼabakazi abattibwa ku olwo bonna baali omutwalo gumu mu enkumi bbiri.
26Yoswa bwe yagalula omuwunda gwe okugwolekeza ekibuga Ayi teyagussa wansi okutuusa ngʼabaamu bonna bamaze okuzikirizibwa.
27Ente nʼebintu ebirala bye baasanga mu kibuga, Abayisirayiri ne babitwala okuba omunyago gwabwe nga Mukama bwe yakuutira Yoswa.
28Yoswa nʼayokya Ayi era ne kifuuka kifunvu ne leero.
29Ate nʼatta kabaka wa Ayi nʼamuwanika ku muti okutuusa akawungeezi lwe baawanulayo omulambo gwe ne bagusuula awo ku wankaaki wʼekibuga ne bagutuumako entuumu yʼamayinja era ekyaliyo ne kaakano.
30
31Nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yakuutira Abayisirayiri era nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kyʼamateeka ga Musa, “Ekyoto ekyʼamayinja agataabajjibwa muntu ngʼakozesa ekyuma.” Bwe kyaggwa ne batandika okukiweerako Mukama ebiweebwayo ebyokebwa nʼebiweebwayo olwʼemirembe.
32Era nʼawandiikira eyo ku mayinja mu maaso gʼAbayisirayiri bonna, amateeka Musa ge yasooka okuwandiikira abaana ba Isirayiri.
33
34Oluvannyuma Yoswa nʼabasomera ebigambo byonna ebyʼomu mateeka, emikisa nʼebikolimo nga byonna bwe byawandiikibwa mu Kitabo kyʼAmateeka.
35Tewali kigambo na kimu Musa kye yalagira, Yoswa kyʼataasomera Bayisirayiri bonna, abaali bakuŋŋaanye abasajja nʼabakazi nʼabaana abato ssaako ne bannaggwanga be baabeeranga nabo.