Yoswa 9:1-27 LGCB2014 - Bible AI

1Bakabaka baamawanga gonna agaali emitala wʼomugga Yoludaani ku nsozi ne mu bikko ne ku lubalama lwʼennyanja ennene okwolekera Lebanooni; omwo nga mwe muli Abakiiti, nʼAbamoli, nʼAbakanani, nʼAbaperezi, nʼAbakiivi, nʼAbayebusi bonna bwe baawulira ebibaddewo

2ne beekobaana okulwana ne Yoswa nʼAbayisirayiri.

3Naye abatuuze bʼomu Gibyoni[4] bwe baawulira Yoswa kyʼakoze Yeriko ne Ayi

4ne basala amagezi ne bateekateeka emmere nʼebyokunywa ne babissa mu bisawosawo ebikadde ebitungiriretungirire ne babiteeka ku ndogoyi zaabwe, ne bambala ebigoye ebiyulifuyulifu

5nʼengatto entungirire, emmere yaabwe yonna yali nkalu ate nga yakukula.

6Ne bagenda eri Yoswa mu lusiisira e Girugaali ne bamugamba wamu nʼAbayisirayiri nti, “Ffe tuva mu nsi yeewala, twagala tukole nammwe endagaano.”

7 Naye Abayisirayiri ne bagamba Abakiivi[5] nti, “Mmwe abatabeera mu ffe tukola tutya nammwe endagaano?”

8Ne baddamu nti, “Ffe tuli baddu bo.” Yoswa nʼabagamba nti, “Mmwe baani era muva wa?”

9Ne baddamu nti, “Tuzze lwa Mukama Katonda wammwe; twawulira byonna bye yakola e Misiri,

10era nʼebyo bye yakola bakabaka ababiri Abamoli abaabeeranga emitala wa Yoludaani, Sikoni kabaka wʼe Kesuboni ne Ogi kabaka we Basani abaabeeranga mu Asitaloosi.

11Abakulembeze nʼabantu bʼewaffe bonna beebaatugamba nti, ‘Mwesibire entanda mugende musisinkane Abayisirayiri mubagambe nti, “Ffe tuli baddu bammwe kale tukole nammwe endagaano.” ’

12Kale laba emmere yaffe eno we twaviira eka ngʼekyayokya naye olwʼolugendo oluwanvu kaakano yiino yonna nkalu era ekukudde nʼokukula.

13Ensawo zʼomwenge zino ezʼamaliba zaali mpya era nga zijjudde omwenge, naye kaakano laba nʼokwabika zaabise; ebyambalo nʼengatto zaffe byonna byabise olwʼolugendo oluwanvu lwe tutambudde.”

14Abayisirayiri, awatali kumala kubuuza eri Mukama, ne bakkiriza okulya ku mmere yʼabatambuze bano.

15Yoswa nʼabakulembeze bʼAbayisirayiri ne bakola nabo endagaano yʼemirembe era ne beerayirira obutabakolako kabi konna.

16Nga wayiseewo ennaku ssatu ngʼendagaano ewedde okukola, Abayisirayiri ne bakivumbula ngʼabantu abo baliraanwa baabwe.

17Abayisirayiri ne bagenda okunoonyereza, ku lunaku olwokusatu ne batuuka mu bibuga byʼabantu bano: Gibyoni, ne Kefira, ne Beroosi ne Kiriyasuyalimu.

18Naye Abayisirayiri tebatta bantu bano kubanga abakulembeze baabwe baali baamala dda okwerayirira mu linnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri obutabatta. Abayisirayiri bonna ne beemulugunyiza abakulembeze baabwe.

19Naye bo abakulembeze ne bakakata nti, “Twamala dda okwerayirira mu maaso ga Mukama Katonda wa Isirayiri, tetuyinza kubatta.

20Tetuteekwa kubatta kubanga twalayira obutakikola, singa tukikola obusungu bwa Mukama bujja kutubuubuukirako.”

21Abakulembeze bʼAbayisirayiri ne bagamba nti, “Temubatta.” Bwe batyo ne bafuuka baakwasanga nku era nʼokukimanga amazzi gʼAbayisirayiri ngʼabakulembeze bwe babalagira.

22Yoswa nʼayita abantu abo nʼababuuza nti, “Naye lwaki mwatulimba nti muli bʼewala, so nga ate muli baliraanwa baffe?

23Kale nno kaakano mukolimiddwa, munaabeeranga baddu, baakwasanga nku era nʼokukimanga amazzi mu nnyumba ya Katonda wange.”

24Yoswa ne bamuddamu nti, “Abaddu bo kino twakikola lwa kubanga twawulira nti, Mukama Katonda wo yalagira omuddu we Musa okubawa ensi eno era nʼokuzikiriza bonna abagibeeramu, bwe tutyo ne tutya nnyo ne twagala okuwonya obulamu bwaffe kye kyatukozeseza ekintu kino.

25Naye tuutuno kaakano tuli mu mukono gwo gwʼomanyi ekyʼokutukolera.”

26Bwʼatyo Yoswa nʼawonya abantu bano mu mukono gwʼAbayisirayiri, ne batabatta.

27Naye okuva olwo nʼabafuula baakwasanga nku nʼokukimiranga Abayisirayiri amazzi, era nʼokuweerezanga ku kyoto kya Mukama mu kifo Mukama kyʼanaalondanga okukiteekamu. Era bwe batyo bwe bakola ne leero.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>