2Muwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri, buli ali mu nsi naye awulirize. Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe, oba mu biseera bya bakitammwe?
3Mukibuulire abaana bammwe, nabo balikibuulira abaana baabwe, nabo balikibuulira abʼemirembe egiriddawo.
4Ebibinja byʼenzige ebisooka bye zitalidde, enzige eziddirira zibirumbye, ate ezo bye zireseewo, enzige ento bye ziridde, ate zino bye zireseewo, enzige endala ne zibizikiririza ddala byonna!
5Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mwekaabire amaziga; mukube ebiwoobe mmwe mwenna abanywi bʼomwenge, mukube ebiwoobe kubanga akamwa kammwe katuuse okwerabira omwenge omusu.
6Eggwanga lirumbye ensi yange, eryʼamaanyi ennyo era eryʼabantu abatabalika. Amannyo gaalyo gali ngʼagʼempologoma, nʼamasongezo gaalyo ngʼagʼempologoma enkazi.
7Eggwanga eryo lizikirizza emizabbibu gyange, ne limalawo emitiini gyange. Lisusumbudde ebikuta byagyo, byonna biri ku ttaka, amatabi gaagyo gasigadde gatukuuliridde.
8Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba, ngʼayambadde ebibukutu olwʼennaku.
9Ebiweebwayo ebyʼemmere eyʼempeke nʼebiweebwayo ebyʼokunywa tewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama. Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katonda bakungubaga.
10Ennimiro ziweddemu ebirime; ettaka likaze, Emmere eyʼempeke eweddewo, omwenge omusu nʼamafuta gʼemizeeyituuni ne bibulira ddala.
11Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa, mmwe abalima emizabbibu mukaabe. Mukaabire eŋŋaano ne sayiri, kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.
12Omuzabbibu gukaze nʼomutiini guyongobedde. Omukomamawanga, nʼolukindu ne apo nʼemiti gyonna egyʼomu nnimiro giwotose. Abantu tebakyalina ssanyu.
13Mmwe bakabona, mwesibe mwambale ebibukutu mukungubage. Mmwe abaweereza ba Katonda wange abʼoku kyoto, mweyale wansi awali ekyoto, musule awo ekiro kyonna nga mukuba ebiwoobe, kubanga mu nnyumba ya Katonda wammwe temukyali kiweebwayo kyonna, ekyʼemmere eyʼempeke oba ekyʼenvinnyo.
14Mulangirire okusiiba okutukuvu nʼokukuŋŋaana mu maaso ga Katonda. Muyite abakulu abakulembeze nʼabantu bonna ababeera mu nsi, bajje mu nnyumba ya Mukama Katonda waabwe bamukaabirire.
15Zitusanze olwʼolunaku luli! Kubanga olunaku lwa Mukama olwʼentiisa lusembedde. Lulijja, ngʼokuzikiriza okuva eri Ayinzabyonna.
16Emmere tetuweddeeko nga tulaba? Essanyu nʼokujaguza mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye?
17Ensigo ziwotokedde mu ttaka, amawanika makalu nʼebyagi byʼemmere bikaze, kubanga emmere eyʼempeke eweddewo.
18Ensolo nga zisinda! Amagana gabuliddwa amagezi; kubanga tewali muddo, nʼendiga nazo zidooba.
19Ayi Mukama, Ggwe gwe nkaabirira, kubanga omuddo gwonna gumaliddwawo empiira, nʼemiti gyonna egyʼomu nnimiro nagyo giyidde.
20Ensolo ezʼomu nsiko nazo zikukaabira okuziyamba, emigga gikalidde, ne gye ziriira, omuddo gwonna guyidde.