1Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni. Nʼakagombe akʼokulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu. Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olwʼentiisa, kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde, era lunaatera okutuuka.
2Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olwʼekizikiza; olunaku olwʼebire ebingi nʼekizikiza ekikutte. Eggye eryʼenzige eryʼamaanyi ennyo, ngʼeryʼabantu abalwanyi abʼekitalo, libuutikidde ensozi. Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna ebyʼedda, era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo.
3Enzige ezikulembedde zirya ngʼomuliro ogwokya buli wantu, nʼezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ngʼennimi zʼomuliro. Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ngʼennimiro ya Adeni, naye gye ziva buli kimu zikiridde; ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere.
4Zifaanana ngʼembalaasi, era zidduka ngʼembalaasi ezʼentalo.
5Zigenda zibuuka ku nsozi nga zikekera ngʼamagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera; ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ngʼomuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era nga ziri ngʼeggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe.
6Abantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi, era bonna beeraliikirivu.
7Zirumba nʼamaanyi ngʼeggye eryʼabalwanyi, ne ziwalampa ebisenge ngʼabajaasi. Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungi awatali kuwaba nʼakamu.
8Tezirinnyaganako, buli emu ekumbira mu kkubo lyayo. Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna, ne watabaawo kisobola kuziziyiza.
9Zifubutuka ne zigwira ekibuga. Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo. Zirinnya amayumba ne ziyingirira mu madirisa ngʼababbi bwe bakola.
9
10Zikankanya ensi era nʼeggulu ne lijugumira. Zibuutikira enjuba nʼomwezi, era nʼemmunyeenye tezikyayaka.
11Mukama akulembera eggye lye nʼeddoboozi eribwatuuka. Eggye lya Mukama ddene nnyo era lya maanyi. Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi. Kubanga olunaku lwa Mukama lukulu era lwa ntiisa nnyo. Ani ayinza okulugumira?
12Mukama kyava agamba nti, “Mukomeewo gye ndi nʼomutima gwammwe gwonna. Mukomeewo nʼokusiiba nʼokukaaba awamu nʼokukungubaga.”
12
13“Muyuze emitima gyammwe so si byambalo byammwe. Mudde eri Mukama Katonda wammwe, kubanga ajjudde ekisa nʼokusaasira, era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo; nʼabandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
14Ani amanyi obanga anaakyuka nʼabasonyiwa, nʼabawa omukisa gwe ne musobola nʼokuwaayo eri Mukama Katonda wammwe ekiweebwayo ekyʼemmere enkalu, nʼekiweebwayo ekyʼekyokunywa?”
14
15“Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mulangirire okusiiba okutukuvu. Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa.
16Mukuŋŋaanye abantu bonna. Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye. Muyite abakulu abakulembeze. Muleete abaana abato nʼabo abakyali ku mabeere. Nʼoyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye, nʼeyakafumbirwa naye aveeyo gyʼali.
17Bakabona abaweereza ba Mukama bayimirire wakati wʼekisasi kya yeekaalu nʼekyoto, bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, ‘Saasira abantu bo, Ayi Mukama; abantu bʼobusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga era nʼokubasekerera.’ Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti, ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”
18Awo Mukama nʼakwatirwa ensi ye ekisa, nʼasaasira abantu be.
19Nʼayanukula abantu be nti, “Muwulirize, nzija kubaweereza emmere enkalu, nʼenvinnyo, nʼamafuta, ebimala okubakkusiza ddala, era siriddayo kubaleka, ne mufuuka ekivume, bannaggwanga amalala ne babasekerera.”
20“Ndibagobako eggye eryʼomu bukiikakkono ne ndigobera mu ddungu eryʼewala ennyo. Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja eyʼEbuvanjuba, nʼekibinja ekyʼemabega ndikigobera mu nnyanja eyʼEbugwanjuba. Ekivundu nʼokuwunya birituuka wala okusinga ebyo byonna bye libakoze.
21Mwe abali mu nsi, temutya. Musanyuke era mujaguze; kubanga Mukama abakoledde ebikulu.
22Nammwe ensolo ezʼomu nsiko temutya; kubanga omuddo gwonna mu nsiko gusibukidde. Emiti gibaze ebibala byagyo, era emitiini nʼemizabbibu nagyo gibaze ebibala bingi.
23Musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni; mujagulize Mukama Katonda wammwe. Kubanga abawadde enkuba esooka mu butuukirivu. Era abawadde enkuba nnyingi esooka nʼesembayo mu mwaka ngʼobwʼedda.
24Amawuuliro gammwe galijjula eŋŋaano, nʼamasogolero gammwe galijjula envinnyo nʼamafuta nʼokubooga ne gabooga.”
24
25“Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo. Lyali ggye lyange eryʼamaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera, nʼenzige ezisala obusazi, awamu nʼezo ezizikiririza ddala.
26Kale, munaabanga nʼebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga. Munaatenderezanga erinnya lya Mukama Katonda wammwe abakoledde ebintu ebirungi bwe bityo. Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.
27Mulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri, era nga Nze, Mukama, Nze Katonda wammwe, so tewali mulala; nʼabantu bange tebakyaddayo kuswazibwa.”
28“Awo olulituuka oluvannyuma lwʼebyo, ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza ebyʼomu maaso; abakadde baliroota ebirooto, nʼabavubuka bammwe balyolesebwa.
29Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja nʼabakazi.
30Era ndyolesa ebyamagero mu ggulu ne ku nsi: omusaayi nʼomuliro nʼekikoomi ekyʼomukka.
31Enjuba erifuuka ekizikiza, nʼomwezi gulimyuka ngʼomusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olwʼentiisa nga terunnatuuka.
32Awo olulituuka buli alikoowoola erinnya lya Mukama okusaasirwa alirokoka. Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abaliwona nga Mukama bwʼayogedde, ne mu abo abalifikkawo mulibaamu abo Mukama bʼaliyita.”