Yoweeri 3:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1“Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo, Yuda nʼekibuga Yerusaalemi ndibiddiza emikisa gyabyo nga bwe gyabanga edda.

2Ndikuŋŋaanya abamawanga bonna ne mbaserengesa mu kiwonvu Yekosafaati, ne mbasalira omusango olwa byonna bye baakola abantu bange Abayisirayiri abʼobusika bwange. Kubanga baasaasaanya Abayisirayiri mu mawanga, ne bagabana ensi yange.

3Baagabana abantu bange nga babakubirako obululu; ne batunda abalenzi olwʼabakazi bamalaaya, nʼabawala ne babatundamu omwenge ne beenywera.

4“Mwe Ttuulo ne Sidoni nʼenjuyi zonna ezʼAbafirisuuti, mmwe bʼani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago.

5Kubanga mwatwala effeeza yange ne zaabu yange nʼebintu byange ebyʼomuwendo omungi ne mubissa mu masabo gammwe.

6Mwatwala abantu bʼomu Yuda ne mu Yerusaalemi ne mubatunza Abayonaani.

7“Laba, ndibaggyayo mu mawanga gye mwabatunda; mmwe mbakole nga bwe mwabakola.

8Batabani bammwe ne bawala bammwe ndibaguza batabani ba Yuda, nabo balibaguza abantu abʼomu ggwanga eryʼewala ennyo, eryʼe Seba.” Ebyo Mukama yʼabyogedde.

9Bakabona mulangirire mu mawanga bwe muti nti, Mwetegekere olutalo! Muyite abalwanyi bammwe abʼamaanyi, buli mulwanyi yenna asembere ajje mu lutalo.

10Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala, nʼobwambe bwammwe mubuweeseemu amafumu; omunafu agambe nti, “Ndi wa maanyi.”

11Mujje mangu mwe mwenna abamawanga agatwetoolodde, mukuŋŋaanire mu kiwonvu. Ayi Mukama, weereza eggye lyo libalumbe.

12“Amawanga geeteeketeeke gajje mu kiwonvu ekya Yekosafaati; kubanga eyo gye ndisinzira ne nsalira amawanga gonna ageetoolodde wano omusango.

13Kozesa oluwabyo lwo, kubanga ekiseera ekyʼamakungula kituuse. Mujje mubabetente nga bwe mulinnyirira emizabbibu mu ssogolero okutuusa envinnyo lwʼekulukuta, ekibi kyabwe kinene nnyo.”

14Abantu bukadde na bukadde abali mu kiwonvu ekyʼokusalirwamu omusango! Kubanga olunaku lwa Mukama lusembedde lwaliramulirako mu kiwonvu ekyʼokusalirwamu omusango.

15Ekizikiza kibuutikidde enjuba nʼomwezi, nʼemmunyeenye tezikyayaka.

16Mukama aliwuluguma ngʼayima ku Sayuuni; alibwatuka nʼeddoboozi lye ngʼasinziira mu Yerusaalemi. Eggulu nʼensi birikankana. Naye Mukama aliba ekiddukiro kyʼabantu be, era ekigo kyʼabaana ba Isirayiri ekyʼamaanyi.

17“Kale mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe, abeera ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni. Era Yerusaalemi kinaabeeranga kitukuvu, nga ne bannamawanga tebakyakirumba.

17

18“Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya, nʼobusozi bulikulukusa amata, nʼemigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi. Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama nʼefukirira ekiwonvu kya Sittimu.

19Misiri erifuuka amatongo nʼensi ya Edomu erifuuka ddungu jjereere olwʼebikolobero bye baakola ku bantu ba Yuda, ensi mwe battira abantu abatalina musango.

20Naye mu Yuda mulibeeramu abantu ennaku zonna, ne Yerusaalemi kiribeerawo emirembe gyonna.

21Ndyesasuza olwʼomusaayi ogwʼabo abattibwa, era teriba mutemu asonyiyibwa. Kubanga Mukama abeera mu Sayuuni.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>