Yuda 1:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1Nze, Yuda, omuddu wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, mpandiikira abaagalwa bonna abaayitibwa mu Katonda Kitaffe, era abakuumibwa Yesu Kristo.

2Ekisa kya Katonda, nʼemirembe, nʼokwagala byeyongerenga mu mmwe.

3Abaagalwa, nnali neesunga nnyo okubawandiikira ku bulokozi bwaffe bwentyo nawalirizibwa okubawandiikira nga mbazzaamu amaanyi nga mbegayirira mulwanirire okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu.

4Waliwo abantu abajja mu bubba, abaawandiikwako edda nga baasalirwa omusango, abatatya Katonda abajerega ekisa kya Katonda waffe, ne bakiyisaamu amaaso, ne beegaana Yesu Kristo Mukama waffe, omu yekka.

5Naye njagala okubajjukiza nti newaakubadde nga byonna mubimanyi, nga olunaku lumu Mukama yalokola eggwanga nʼaliggya mu nsi yʼe Misiri, oluvannyuma nʼazikiriza abatakkiriza,

6ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira nʼebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere nʼabassa mu kkomera eryʼekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango.

7Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola nʼebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi nʼobwenzi, nga nʼabasajja bakolaganako ebyʼensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa nʼomuliro, era byabonerezebwa nʼomuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli.

8Mu ngeri yʼemu abo abaloota bagwagwawaza omubiri, ate oludda ne banyooma obuyinza, ne bavvoola ne bamalayika.

9Kale newaakubadde nga Mikayiri, ye malayika asinga obukulu, naye bwe yali akaayana ne Setaani ku mulambo gwa Musa, teyamuvuma wabula yagamba bugambi nti, “Mukama akunenye!”

10Naye kale abantu bano bavvoola kye batategeera, era okufaanana ngʼensolo obusolo bakola buli kye baagala, era ebyo bibaleetedde okuzikirira.

11Zibasanze abo! Kubanga bagoberera ekkubo lya Kayini, era bakola buli kye basobola okufunamu ensimbi okufaanana nga Balamu, era ne bajeemera Katonda nga Koola bwe yakola, noolwekyo balizikirizibwa.

12Abantu bano bwe bajja ne babeegattamu nga muli ku mbaga zammwe ezʼokumanyagana, baba ngʼamabala amabi, nga tebatya, nga beefaako bokka, nga bali ngʼebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; oba ngʼemiti egiwaatudde, egitaliiko bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuulibwa nʼemirandira;

13oba ngʼamayengo agʼoku nnyanja agasiikuuse, ebikolwa byabwe ne bibaswaza; oba ngʼemmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo ekyʼolubeerera.

14Enoka eyaliwo nga wayiseewo emirembe musanvu okuva ku Adamu, abantu bano yaboogerako ebyʼobunnabbi nti, “Mulabe Mukama ajja nʼabatukuvu be abangi ennyo.

15Alireeta abantu bonna mu maaso ge basalirwe omusango mu bwenkanya olwʼebikolwa byabwe bonna abatatya Katonda, bye baakola mu bugenderevu, nʼolwʼebigambo byonna ebizibu abakozi bʼebibi bye bamwogeddeko ebyʼobutatya Katonda.”

16Beemulugunya, era bakola buli kye beegomba, era nga boogerera waggulu ebigambo ebyʼokweraga; era olaba bassizzaamu omuntu ekitiibwa ngʼomanya nti Balina kye bamwagalako.

17Naye mmwe, abaagalwa, mujjukire abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo ebigambo bye baayogera edda

18bwe baabagamba nti, “Mu nnaku ezʼoluvannyuma walijjawo abantu abalibasekerera, nga beegomba nga bwe baagala, nga batambulira mu bitasiimibwa Katonda.”

19Abo be bo abaleeta enjawukana, abʼomubiri obubiri era abatalina Mwoyo Mutukuvu.

20Naye mmwe, abaagalwa, musaana okuzimba obulamu bwammwe nga bweyongera okuba obwʼamaanyi, nga mubuzimbira ku musingi ogwʼokukkiriza kwammwe okutukuvu, era nga musaba mu Mwoyo Mutukuvu,

21nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olwʼobulamu obutaggwaawo.

22Mubeerenga ba kisa eri abo ababuusabuusa mu kukkiriza,

23nʼabalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi zʼomuliro, nʼabalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ngʼaboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe.

24Katonda asobola okubawanirira muleme okuva mu kkubo lye, era nʼokubatuusa mu maaso ge agʼekitiibwa nga temuliiko kamogo era nga mujjudde essanyu;

25Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olwʼamaanyi ge nʼobuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>