1ⓐ Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kwʼababi, era atayimirira mu kibiina kyʼababi, newaakubadde okutuula nʼabo abanyooma ebya Katonda.
2ⓑ Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama, era mu mateeka ago mwʼalowooleza emisana nʼekiro.
3ⓒ Afaanana ngʼomuti ogwasimbibwa ku mabbali gʼomugga, ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo, nʼebikoola byagwo tebiwotoka. Na buli kyʼakola kivaamu birungi byereere.
4ⓓ Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo. Bali ngʼebisusunku ebifuumuuliddwa.
5Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango; newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina kyʼabatuukirivu.
6ⓔ Kubanga Mukama alabirira ekkubo lyʼabatuukirivu, naye ekkubo lyʼabakola ebibi liribula.