Zabbuli 10:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Lwaki otwekwese, Ayi Mukama? Lwaki otwekwese mu biseera ebyʼemitawaana?

2Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu; muleke agwe mu nkwe ezo zʼasaze.

3Kubanga omubi yeewaana ngʼanyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe, agabula aboomululu nʼavuma Mukama.

4Omubi mu malala ge tanoonya Katonda.

5Buli kyʼakola kimugendera bulungi. Amateeka go tagafaako, era nʼabalabe be abanyooma.

6 Ayogera mu mutima gwe nti, “Sikangibwa, nzija kusanyuka emirembe gyonna.”

7 Mu kamwa ke mujjudde okukolima nʼobulimba awamu nʼokutiisatiisa; ebigambo bye bya mutawaana era bibi.

8Yeekukuma mu byalo okutemula abantu abataliiko musango. Yeekweka ngʼaliimisa bʼanatta.

9Asooba mu kyama ngʼempologoma, ngʼalindirira okuzinduukiriza abateesobola. Abakwasa nʼabatwalira mu kitimba kye.

10Bʼabonyaabonya bagwa wansi ne babetentebwa ngʼamaanyi gʼomubi gabasukkiridde.

11Ayogera mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, amaaso ge agakwese, era takyaddayo kubiraba.”

12 Golokoka, Ayi Mukama, ozikirize omubi, Ayi Katonda; abanaku tobeerabiranga.

13Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda, nʼagamba mu mutima gwe nti Togenda kwennyonnyolako?

14 Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe nʼokubonaabona kwabwe obiraba era ojja kubikolako. Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo, kubanga gwe mubeezi wʼabatalina bakitaabwe.

15Malawo amaanyi gʼomwonoonyi, muyite abyogere ebyo ebibadde bitajja kuzuulwa.

16Mukama ye Kabaka emirembe nʼemirembe. Amawanga galizikirizibwa mu nsi ye.

17Mukama awulira okwetaaga kwʼababonyaabonyezebwa, ogumye emitima gyabwe; otege okutu kwo obaanukule.

18Olwanirira abataliiko bakitaabwe nʼabajoogebwa; omuntu obuntu owʼoku nsi nʼataddayo kubatiisa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>