Zabbuli 100:1-5 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli eyʼokwebaza. Muleetere Mukama eddoboozi eryʼessanyu mmwe ensi zonna;

2Muweereze Mukama nʼessanyu; mujje mu maaso ge nʼennyimba ezʼessanyu.

3 Mumanye nga Mukama ye Katonda; ye yatutonda, tuli babe, tuli bantu be era endiga ezʼomu ddundiro lye.

4 Muyingire mu miryango gye nga mwebaza, ne mu mpya ze nʼokutendereza; mumwebaze mutendereze erinnya lye.

5 Kubanga Mukama mulungi, nʼokwagala kwe kwa lubeerera; nʼobwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>