Zabbuli 101:1-8 LGCB2014 - Bible AI

1Zabbuli Ya Dawudi Nnaayimbanga ku kwagala kwo nʼobutuukirivu bwo; nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.

2 Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola ebyʼobutuukirivu, naye olijja ddi gye ndi? Nnaabeeranga mu nnyumba yange nga siriiko kya kunenyezebwa.

3Sijjanga kwereetereza kintu kyonna ekibi. Nkyayira ddala ebikolwa byʼabo abava mu kkubo lyo; sijjanga kubyeteekako.

4 Sijjanga kuba mukuusa; ekibi nnaakyewaliranga ddala.

5 Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama, nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso agʼamalala nʼomutima ogwʼamalala sijja kubigumiikirizanga.

6Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga, balyoke babeerenga nange; akola ebyʼobutuukirivu yʼanamperezanga.

7Atayogera mazima taabeerenga mu nnyumba yange. Omuntu alimba sirimuganya kwongera kubeera nange.

8 Buli nkya nnaazikirizanga abakola ebibi bonna mu nsi, bwe ntyo abakozi bʼebibi ne mbamalirawo ddala mu kibuga kya Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
v>