Zabbuli 102:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Okusaba kwʼoyo ali mu buyinike nga baagala kumutta, nʼafukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama. Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, okkirize okukoowoola kwange kutuuke gyʼoli.

2Tonneekweka mu biseera ebyʼobuyinike bwange. Ntegera okutu kwo onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!

3 Kubanga ennaku zange zifuumuuka ngʼomukka, nʼamagumba gange gaaka ngʼamanda.

4Omutima gwange gulinnyirirwa ngʼomuddo, era guwotose; neerabira nʼokulya emmere yange.

5Olwʼokwaziirana kwange okunene, nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.

6Ndi ngʼekiwuugulu ekyʼomu ddungu, era ngʼekiwuugulu ekyʼomu nsiko.

7Nsula ntunula, nga ndi ngʼekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya kʼennyumba.

8Abalabe bange banvuma olunaku lwonna; abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.

9Kubanga ndya evvu ngʼalya emmere, nʼamaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.

10Olwʼobusungu nʼokunyiiga kwo; onneegobyeko nʼonsuula eyo.

11Ennaku zange ziri ngʼekisiikirize kyʼolweggulo nga buziba; mpotoka ngʼomuddo.

12Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo eyʼobwakabaka emirembe nʼemirembe; erinnya lyo linajjukirwanga abʼomu mirembe gyonna.

13Olisituka nʼosaasira Sayuuni, kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano; ekiseera kye wateekateeka kituuse.

14Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo, nʼenfuufu yʼomu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.

15 Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama; ne bakabaka bonna abʼensi banaakankananga olwʼekitiibwa kyo.

16Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto, era nʼalabika mu kitiibwa kye.

17 Alyanukula okusaba kwʼabanaku; talinyooma kwegayirira kwabwe.

17

18 Bino leka biwandiikirwe abʼomu mirembe egirijja, abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.

19 Bategeere nti Mukama yatunula wansi ngʼasinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu; Mukama yasinzira mu ggulu nʼatunuulira ensi,

20Okuwulira okusinda kwʼabasibe, nʼokusumulula abo abasaliddwa ogwʼokufa;

21Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni, bamutenderezenga mu Yerusaalemi;

22 abantu nga bakuŋŋaanye, awamu nʼobwakabaka, okusinza Mukama.

23Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka; akendeezezza ku nnaku zʼobulamu bwange.

24 Ne ndyoka mmukaabira nti, Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati gʼemyaka gyʼobulamu bwange, ggwʼabeera omulamu emirembe gyonna.

25 Ku ntandikwa wassaawo omusingi gwʼensi; nʼeggulu gyʼemirimu gyʼemikono gyo.

26Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera. Byonna birikaddiwa ngʼebyambalo. Olibikyusa ngʼebyambalo, ne bisuulibwa.

27 Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera nʼemyaka gyo tegirikoma.

28 Abaana bʼabaweereza bo baliba mu ddembe; ne bazzukulu baabwe banaabeeranga wʼoli nga tebalina kye batya.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>