1Zabbuli Ya Dawudi Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
2Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, era teweerabiranga birungi bye byonna.
3ⓛ Asonyiwa ebibi byo byonna, nʼawonya nʼendwadde zo zonna.
4ⓜ Anunula obulamu bwo emagombe, nʼakusaasira era nʼakwagala nʼokwagala okutaggwaawo.
5Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala; obuvubuka bwo ne budda buggya ngʼempungu.[23]
6Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya, ensonga zʼabo bonna abajoogebwa.
7ⓝ Yamanyisa Musa ebyo byʼayagala, nʼalaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
8ⓞ Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira, tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
9Taasibenga busungu ku mwoyo, era tasunguwala kumala bbanga lyonna.
10ⓟ Tatukola ngʼokwonoona kwaffe bwe kuli, wadde okutusasula ngʼebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11Ngʼeggulu bwe litumbidde ennyo waggulu wʼensi, nʼokwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
12ⓠ Ebibi byaffe abituggyako nʼabitwala wala ngʼebuvanjuba bwʼeri ewala okuva ebugwanjuba.
13Kitaawe wʼabaana nga bwʼasaasira abaana be, ne Mukama bwʼatyo bwʼasaasira abo abamutya.
14Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa era ngʼajjukira nti tuli nfuufu.
15ⓡ Wabula omuntu, ennaku zʼobulamu bwe ziri ngʼomuddo; akula nʼagimuka ngʼekimuli ekyʼomu nnimiro;
16ⓢ Empewo ekifuuwa, ne kifa; nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
17Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo emirembe gyonna, nʼobulokozi bwe eri abaana bʼabaana baabwe.
18Be bo abakuuma endagaano ye ne bajjukira okugondera amateeka ge.
19ⓣ Mukama anywezezza entebe ye eyʼobwakabaka mu ggulu, nʼobwakabaka bwe bufuga ensi yonna.
20ⓤ Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be, mmwe abʼamaanyi abakola kyʼagamba, era abagondera ekigambo kye.
21ⓥ Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge agʼomu ggulu, mmwe abaweereza be abakola byʼayagala.
22Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna ebiri mu matwale ge gonna.