1Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo; ojjudde obukulu nʼekitiibwa.
2Yeebika ekitangaala ngʼayeebikka ekyambalo nʼabamba eggulu ngʼeweema,
3ⓦ nʼateeka akasolya kʼebisulo bye ebyʼoku ntikko kungulu ku mazzi; ebire abifuula amagaali ge, nʼeyeebagala ebiwaawaatiro byʼempewo.
4Afuula empewo ababaka be, nʼennimi zʼomuliro ogwaka abaweereza be.
5Yassaawo ensi ku misingi gyayo; teyinza kunyeenyezebwa.
6ⓧ Wagibikkako obuziba ngʼekyambalo; amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
7Bwe wagaboggolera ne gadduka; bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
8Gaakulukutira ku nsozi ennene, ne gakkirira wansi mu biwonvu mu bifo bye wagategekera.
9ⓨ Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka, na kuddayo kubuutikira nsi.
10Olagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu; ne gakulukutira wakati wʼensozi,
11Ne ganywesa ebisolo byonna ebyʼomu nsiko; nʼendogoyi ne gazimalako ennyonta.
12Ebinyonyi ebyʼomu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali gʼamazzi, ne biyimbira mu matabi.
13Afukirira ensozi ennene ngʼosinziira waggulu gyʼobeera; ensi nʼekkuta ebibala byʼemirimu gyo.
14Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente, nʼebirime abantu bye balima, balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15ⓩ Ne wayini okusanyusa omutima gwe, nʼebizigo okwesiiga awoomye endabika ye, nʼemmere okumuwa obulamu.
16Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi; gyʼemivule gyʼe Lebanooni gye yasimba.
17Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo; ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ezʼomu nsiko gye zibeera; nʼenjazi kye kiddukiro kyʼobumyu.
19ⓐ Wakola omwezi okutegeeza ebiro; nʼenjuba bwʼegwa nʼeraga olunaku.
20ⓑ Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro; olwo ebisolo byonna ebyʼomu bibira ne biryoka bivaayo.
21ⓒ Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya; nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22Enjuba bwʼevaayo ne zigenda, nʼoluvannyuma ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe, ne bakola okutuusa akawungeezi.
24ⓓ Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo! Byonna wabikola nʼamagezi agʼekitalo; ensi ejjudde ebitonde byo.
25Waliwo ennyanja, nnene era ngazi, ejjudde ebitonde ebitabalika, ebintu ebirina obulamu ebinene era nʼebitono.
26ⓔ Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno nʼeri; ne zirukwata ze wakola mwe zibeera okuzannyiranga omwo.
27Ebyo byonna bitunuulira ggwe okubiwa emmere yaabyo ngʼekiseera kituuse.
28Bwʼogibiwa, nga bigikuŋŋaanya; bwʼoyanjuluza engalo zo nʼobigabira ebintu ebirungi ne bikkusibwa.
29ⓕ Bwʼokweka amaaso go ne byeraliikirira nnyo; bwʼobiggyamu omukka nga bifa, nga biddayo mu nfuufu.
30ⓖ Bwʼoweereza Omwoyo wo, ne bifuna obulamu obuggya; olwo ensi nʼogizza buggya.
31ⓗ Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna; era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32ⓘ Atunuulira ensi, nʼekankana; bwʼakwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.
33Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna; nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga; kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi; aboonoonyi baleme kulabikirako ddala. Mumutenderezenga Mukama.