Zabbuli 105:1-45 LGCB2014 - Bible AI

1 Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye; amawanga gonna mugategeeze byʼakoze.

2 Mumuyimbire, mumutendereze; muyimbe ku byamagero bye.

3Mumusuute, ngʼerinnya lye ettukuvu muligulumiza; emitima gyʼabo abanoonya Mukama gijjule essanyu.

4Munoonye Mukama nʼamaanyi ge; mumunoonyenga ennaku zonna.

5Mujjukirenga ebyʼekitalo bye yakola, ebyamagero bye, nʼemisango gye yasala;

6Mmwe bazzukulu bʼomuddu we Ibulayimu, mmwe batabani bʼomulonde we Yakobo;

7 Ye Mukama Katonda waffe; ye alamula mu nsi yonna.

8 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna, kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,

9 Ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu, era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.

10Yakikakasa Yakobo ngʼetteeka, nʼakiwa Isirayiri ngʼendagaano eteriggwaawo nti,

11 “Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani okuba omugabo gwo.”

12 Bwe baali bakyali batono, nga si bangi nʼakamu, era nga bagwira mu nsi omwo,

13Ne batambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala, ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.

14 Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi; nʼalabulanga bakabaka ku lwabwe nti,

15“Abalonde bange, ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”

16 Yaleeta enjala mu nsi, emmere yaabwe yonna nʼagizikiriza.

17Nʼatuma omuntu okubeesooka mu maaso, ye Yusufu eyatundibwa ngʼomuddu,

18 Ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya, obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,

19 Okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira, okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti Bye yayogera bya mazima.

20 Kabaka nʼatuma ne bamusumulula; omufuzi wʼensi eyo yamuggya mu kkomera.

21Yamufuula omukulu wʼebyʼomu maka ge, nʼakulira byonna omufuzi oyo bye yalina;

22Okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga, nʼokuyigiriza abakulu ebyʼamagezi.

23 Oluvannyuma Isirayiri nʼajja mu Misiri; Yakobo bwʼatyo nʼatuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.

24 Mukama nʼayaza nnyo abantu be; ne baba bangi nnyo, nʼabalabe baabwe ne beeraliikirira,

25 Nʼakyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be, ne basalira abaweereza be enkwe.

26Yatuma abaweereza be Musa ne Alooni, be yalonda.

27Ne bakola obubonero bwe obwʼekitalo mu bantu abo; ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.

28Yaleeta ekizikiza ensi yonna nʼekwata, kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.

29 Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi, ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.

30 Ensi yaabwe yajjula ebikere, ebyatuukira ddala ne mu bisenge byʼabafuzi baabwe.

31Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja, nʼensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna ebyʼensi yaabwe.

32 Yafuula enkuba okuba amayinja gʼomuzira; eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.

33Yakuba emizeeyituuni nʼemizabbibu, nʼazikiriza emiti gyʼomu nsi yaabwe.

34 Yalagira, enzige ne zijja ne bulusejjera obutabalika muwendo.

35Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe, na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.

36 Nʼazikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe, nga bye bibala ebisooka ebyʼobuvubuka bwabwe.

37 Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu; era bonna baali ba maanyi.

38 Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze, kubanga baali batandise okubatiira ddala.

39 Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka, nʼomuliro ne gubamulisiza ekiro.

40 Baamusaba, nʼabaweereza enkwale era nʼabaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.

41 Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika, ne gakulukuta mu ddungu ngʼomugga.

42 Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu kye yawa omuweereza we Ibulayimu.

43Abantu be yabaggyayo nga bajaguza, abalonde be nga bayimba olwʼessanyu.

44 Yabawa ensi eyali eyʼamawanga amalala, ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;

45 Balyoke bakwatenga amateeka ge, era bagonderenga ebiragiro bye.

45Mumutendereze Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>