1ⓛ Mumutendereze Mukama! Mwebaze Mukama kubanga mulungi, kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.
2Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama byʼakola nʼabimalayo, oba okumutendereza obulungi nga bwʼasaanira?
3ⓜ Balina omukisa abalina obwenkanya, era abakola ebituufu bulijjo.
4Onzijukiranga, Ayi Mukama, bwʼobanga okolera abantu bo ebirungi; nange onnyambe bwʼolibalokola,
5ndyoke neeyagalire wamu nʼabalonde bo nga bafunye ebirungi, nsanyukire wamu nʼeggwanga lyo, era ntendererezenga mu bantu bo.
6ⓝ Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola; tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
7ⓞ Bakadde baffe tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri; nʼebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira, bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
8ⓟ Naye Mukama nʼabalokola, olwʼerinnya lye, alyoke amanyise amaanyi gʼobuyinza bwe obungi.
9ⓠ Yaboggolera Ennyanja Emyufu, nʼekalira; nʼabakulembera okubayisa mu buziba ngʼabayita ku lukalu mu ddungu.
10ⓡ Yabawonya abalabe baabwe; nʼabanunula mu mikono gyʼabo ababakyawa.
11ⓢ Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe; ne wataba nʼomu awona.
12ⓣ Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza; ne bayimba nga bamutendereza.
13ⓤ Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola; ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14ⓥ Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira; ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15ⓦ Bwʼatyo nʼabawa kye baasaba, kyokka nʼabaleetera nʼolumbe olwʼamaanyi.
16ⓧ Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa ne Alooni abalonde ba Mukama.
17ⓨ Ettaka ne lyasama ne limira Dasani; Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18ⓩ Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe; ennimi zʼomuliro ne zookya aboonoonyi.
19ⓐ Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana; ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20ⓑ Ekitiibwa kya Katonda ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21Ne beerabira Katonda eyabanunula, eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu, nʼebikolwa ebyʼentiisa ku Nnyanja Emyufu.
23ⓒ Nʼagamba nti, Ajja kubazikiriza. Naye Musa, omulonde we, nʼayimirira mu maaso ge nʼamwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako nʼatabazikiriza.
24ⓓ Baanyooma ebyʼensi ennungi, kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.
25ⓔ Beemulugunyiriza mu weema zaabwe, ne batagondera ddoboozi lya Mukama.
26ⓕ Kyeyava yeerayirira nti Alibazikiririza mu ddungu,
27era nga nʼabaana baabwe balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.
28ⓖ Baatandika okusinza Baali e Peoli; ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29Ne banyiiza Katonda olwʼebikolwa byabwe ebibi; kawumpuli kyeyava abagwamu.
30ⓗ Naye Finekaasi nʼayimirira wakati waabwe ne Katonda, kawumpuli nʼagenda.
31ⓘ Ekyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu emirembe gyonna.
32ⓙ Bwe baatuuka okumpi nʼamazzi agʼe Meriba ne banyiiza Mukama, ne baleetera Musa emitawaana;
33Kubanga baajeemera ebiragiro bye, ne kimwogeza nʼebigambo ebitaali bya magezi.
34ⓚ Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza nga Mukama bwe yali abalagidde,
35ⓛ naye beetabika nʼabannaggwanga ago ne bayiga empisa zaabwe.
36Baasinza ebifaananyi ebikole nʼemikono ebyʼamawanga ago ne bibafuukira omutego.
37ⓜ Baawaayo batabani baabwe ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38ⓝ Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe abataliiko musango, be baawangayo eri ebifaananyi ebikole nʼemikono Abakanani bye baakola, ensi nʼeyonoonebwa nʼomusaayi gwabwe.
39ⓞ Beeyonoona olwʼebyo bye baakola, ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.