1Mwebaze Mukama, kubanga mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyosnna.
2Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo; abo be yanunula mu mikono gyʼabalabe;
3ⓤ Abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba nʼEbuvanjuba, nʼokuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.
4Abamu baataataaganira mu malungu nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
5Baalumwa ennyonta nʼenjala, obulamu bwabwe ne butandika okusereba.
6Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi; nʼabawonya mu kweraliikirira kwabwe.
7ⓥ Yabakulembera butereevu nʼabatuusa mu kibuga mwe baabeera.
8Kale singa beebazanga Mukama olwʼokwagala kwe okutaggwaawo, nʼolwʼebyʼekitalo byʼakolera abaana bʼabantu!
9Kubanga abalina ennyonta abanywesa, nʼabayala abakkusa ebirungi.
10ⓦ Abamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize ekyʼokufa; abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi;
11ⓧ Kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda, ne banyoomoola amagezi gʼoyo Ali Waggulu Ennyo.
12ⓨ Baakozesebwa emirimu egyʼamaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike; baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo.
13Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu bizibu byabwe, era nʼabawonya;
14Nʼabaggya mu kizikiza ne mu kisiikirize ekyʼokufa; nʼenjegere ezaali zibasibye nʼazikutula.
15Kale singa beebazanga Mukama olwʼokwagala kwe okutaggwaawo, nʼolwebikolwa bye ebyʼekitalo byʼakolera abaana bʼabantu!
16ⓩ Kubanga enzigi ezʼebikomo azaasaayasa, nʼemitayimbwa egyʼekyuma agimenyamu.
17ⓐ Abamu baafuuka basirusiru olwʼobujeemu bwabwe; ne babonaabona olwʼebikolwa byabwe ebibi.
18ⓑ Ne batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa.
19Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu buzibu obwo, nʼabawonya.
20ⓒ Yabatumira ekigambo kye, nʼawonya endwadde zaabwe; nʼabalokola mu kuzikirira.
21Kale singa beebazanga Mukama olwʼokwagala kwe okutaggwaawo, nʼolwʼebikolwa bye ebyʼekyewuunyo byʼakolera abaana bʼabantu!
22ⓓ Bamuleeterenga ebiweebwayo ebyʼokwebaza, era batendenga ebikolwa bye nʼennyimba ezʼessanyu.
23Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja; baali basuubuzi bʼoku gayanja aganene.
24Baalaba Mukama bye yakola, ebikolwa bye ebyʼekitalo mu buziba bwʼennyanja.
25ⓔ Kubanga yalagira omuyaga ne gusitula amayengo waggulu.
26Ne gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi; akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi,
27Ne beesunda, eruuyi nʼeruuyi ne baba ngʼomutamiivu atagala; nʼamagezi ne gabaggwaako.
28Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu; nʼabawonya mu kweraliikirira kwabwe.
29ⓕ Omuyaga yagusirisa, ennyanja nʼetteeka.
30Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka; nʼabakulembera nʼabatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.
31Kale singa abantu beebazanga Mukama olwʼokwagala kwe okutaggwaawo, nʼolwʼebikolwa bye ebyʼekyewuunyo byʼakolera abaana bʼabantu!
32Bamugulumizenga ngʼabantu bakuŋŋaanye, era bamutenderezenga mu lukiiko lwʼabakulu.
33ⓖ Afuula emigga amalungu, nʼemikutu gyʼamazzi ne giba ngʼettaka ekkalu,
34ⓗ ensi engimu nʼagifuula olukoola olwʼolunnyo olwʼobwonoonyi bwʼabantu baamu.
35Eddungu yalijjuza ebidiba byʼamazzi, nʼensi enkalu nʼagikulukusizaamu amazzi,
36abalina enjala nʼabateeka omwo, ne beezimbira ekibuga ekyʼokubeeramu,
37Ennimiro zaabwe ne bazisigamu emmere, ne basimba emizabbibu, ne bakungula ebibala bingi.
38ⓘ Yabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi; nʼebisibo byabwe nʼatabiganya kukendeera.
39ⓙ Ate ne bakendeera obungi, ne bakkakkanyizibwa olwʼokujeezebwa, nʼokujoogebwa nʼokulaba ennaku;
40ⓚ Oyo anyooma nʼabakungu, nʼababungeetanyiza mu lukoola omutali kantu.
41ⓛ Naye abaali mu kwetaaga yabamalako ennaku nʼokubonaabona, nʼayaza ezzadde lyabwe ngʼebisibo.
42ⓜ Abagolokofu, bino babiraba ne basanyuka; naye abakola ebibi bo basirika busirisi.
43ⓝ Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.