Zabbuli 108:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Oluyimba. Zabbuli ya Dawudi Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda; nnaayimbanga ne nkutendereza nʼomwoyo gwange gwonna.

2Muzuukuke, mmwe entongooli nʼennanga eyʼenkoba, nzija kuyimba okukeesa obudde.

3Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama, mu bantu bonna, nnaakuyimbiranga mu mawanga gonna.

4Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu; nʼobwesigwa bwo butuuka ku bire.

5Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu; nʼekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

6 Tulokole otuyambe nʼomukono gwo ogwa ddyo, abo booyagala banunulibwe.

7Katonda ayogedde ngʼasinziira mu kifo kye ekitukuvu nʼagamba nti, “Nga nzijudde essanyu, ndisala mu Sekemu, era nʼEkiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.

8 Ensi ya Gireyaadi yange, nʼeya Manase nayo yange. Efulayimu mwe muli abalwanyi bange abazira; ate mu Yuda mwe munaavanga bakabaka.

9Mowaabu be baweereza bange abawulize; ate Edomu be baddu bange; Abafirisuuti ndibaleekaanira mu ddoboozi eryʼomwanguka eryʼobuwanguzi.”

10Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu? Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?

11Si ggwe, ayi Katonda, atusudde, atakyatabaala nʼamaggye gaffe?

12Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe, kubanga obuyambi bwʼabantu temuli nsa.

13Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi; kubanga yʼanaalinnyiriranga abalabe baffe wansi wʼebigere bye.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>