1Ya Makulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Ayi Katonda wange gwe ntendereza, tonsiriikirira.
2Kubanga abantu abakola ebibi era abalimba, banjogeddeko ebyʼobulimba.
3ⓠ Banfukumulidde ebigambo ebyʼobukyayi, ne bannumbagana awatali nsonga.
4Bwe mbalaga omukwano, bo bandaga bukyayi; kyokka nze mbasabira.
5Bwe mbakolera ebirungi bo bansasulamu bibi; bwe mbalaga okwagala bo bankyawa bukyayi.
6ⓡ Mumulabire omuntu omukozi wʼebibi amwolekere; wabeewo amuwawaabira;
7ⓢ Bwe banaawoza, omusango gumusinge; nʼokusaba kwe kufuuke kwonoona.
8ⓣ Aleme kuwangaala; omuntu omulala amusikire.
9Abaana be basigalire awo nga tebaliiko kitaabwe, ne mukyala we afuuke nnamwandu.
10Abaana be bataataaganenga nga bagenda basabiriza; bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.
11ⓤ Amubanja ajje awambe ebibye byonna; nʼabagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera.
12Waleme kubaawo amusaasira, wadde akolera abaana be ebyekisa.
13ⓥ Ezzadde lye lizikirizibwe, nʼamannya gʼabazzukulu be gasangulwe mu ago agʼomu mulembe oguliddirira.
14ⓦ Mukama ajjukirenga ebyonoono bya bakadde be; nʼekibi kya nnyina kireme kwerabirwanga.
15ⓧ Mukama ajjukirenga ebyonoono byabwe bulijjo, nʼensi ebeerabirire ddala.
16Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa; naye yayigganyanga abaavu, nʼabeetaaga, nʼabanakuwavu nʼabatuusa ne ku kufa.
17ⓨ Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!
18ⓩ Yeeteekako okukolima ngʼekyambalo, ne kumutobya ngʼamazzi, ne kuyingira mu magumba ge ngʼamafuta.
19Kubeerenga ngʼekyambalo kyʼayambadde, era ngʼolukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.
20Ebyo byonna yʼeba ebeera empeera, Mukama gyʼawa abo abandoopaloopa, era abanjogerako ebyʼakabi ebyereere.
21Naye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange, nnwanirira olwʼerinnya lyo; era omponye olwʼokwagala kwo okulungi okutaggwaawo.
22Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga, nʼomutima gwange gunyolwa nnyo.
23Sikyaliwo, ndi ngʼekisiikirize ekyʼakawungeezi; mmansuddwa eri ngʼenzige.
24ⓐ Amaviivi gange ganafuye olwʼokusiiba; omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.
25ⓑ Abandoopaloopa bansekerera; bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.
26Mbeera, Ayi Mukama Katonda wange! Ondokole ngʼokwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.
27ⓒ Baleke bategeere nti Ggwe okikoze, nʼomukono gwo Ayi Mukama.
28ⓓ Balikoma, naye ggwe olimpa omukisa! Leka abannumbagana baswale, naye nze omuddu wo nga nsanyuka!
29ⓔ Abandoopa baswazibwe, nʼensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.
30ⓕ Nneebazanga Mukama nʼakamwa kange; nnaamutenderezanga wakati mu kibiina ekinene.
31Kubanga alwanirira omunaku ali mu kwetaaga, nʼamuwonya abo abaagala afe.