1Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Mu Mukama mwe neekweka; ate muyinza mutya okuŋŋamba nti, Ddukira ku nsozi ngʼebinyonyi?
2Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe egyʼobusaale, balase abalina omutima omulongoofu.
3Emisingi nga gizikirizibwa, omutuukirivu ayinza kukola ki?
4Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu; Mukama atudde ku ntebe ye eyʼobwakabaka eri mu ggulu. Amaaso ge gatunuulira era geetegereza abaana bʼabantu.
5ⓤ Mukama akebera abatuukirivu naye omutima gwe gukyawa ababi, nʼabakola ebyʼobukambwe.
6Ababi alibayiwako amanda agʼomuliro; nʼempewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.
7Kubanga Mukama mutuukirivu era ayagala ebyʼobutuukirivu; abo abalongoofu be balimulaba.