1Zabbuli ya Dawudi ⓖ Mukama yagamba Mukama wange nti, “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo ne mbassa wansi wʼebigere byo.[24]”
2ⓗ Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni; olifuga abalabe bo.
3ⓘ Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo ngʼekiseera kyʼolutalo kituuse. Abavubuka bo, nga bali mu byʼekitiibwa ekitukuvu, balikukuŋŋaanirako ngʼomusulo bwe gulabika ngʼobudde bwakakya.
4ⓙ Mukama yalayira, era tagenda kukijjulula, yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna ngʼengeri ya Merukizeddeeki bwʼeri.”
5Mukama anaakulwaniriranga; bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
6Aliramula amawanga, abafuzi bʼensi yonna nʼabazikiriza, nʼentuumo zʼemirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.
7Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo, nʼaddamu amaanyi agʼobuwanguzi.