1Mutendereze Mukama! Nneebazanga Mukama nʼomutima gwange gwonna, mu lukiiko lwʼabalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.
2Mukama byʼakola bikulu; bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
3Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa, nʼobutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
4Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye, Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
5Agabira abamutya emmere; era ajjukira endagaano ye buli kiseera.
6Abantu be abalaze ngʼebikolwa bye bwe biri ebyʼamaanyi; nʼabagabira ensi eyali eyʼabannaggwanga.
7ⓚ Byʼakola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya; nʼamateeka ge gonna ga bwesigwa,
8ⓛ Manywevu emirembe gyonna; era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
9ⓜ Yanunula abantu be; nʼalagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna. Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!
10ⓝ Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu. Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.