Zabbuli 112:1-10 LGCB2014 - Bible AI

1Mutendereze Mukama! Alina omukisa omuntu atya Katonda, era asanyukira ennyo mu mateeka ge.

2Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi; omulembe gwʼabalongoofu guliweebwa omukisa.

3Ennyumba ye enejjulanga ebintu nʼobugagga obungi; era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.

4 Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu, alina ekisa, nʼoyo alina okusaasira, era omutuukirivu.

5 Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba, era akola emirimu gye gyonna nʼobwenkanya, alifuna ebirungi.

6 Omutuukirivu talinyeenyezebwa, era anajjukirwanga ennaku zonna.

7 Amawulire amabi tegaamutiisenga, kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.

8 Omutima gwe guteredde, tewali kyʼanaatyanga, era oluvannyuma alitunuulira abalabe be nʼamaaso agʼobuwanguzi.

9Agabidde abaavu bye beetaaga; mutuukirivu ebbanga lyonna; era bonna banaamussangamu ekitiibwa.

10Omubi anaabirabanga ebyo, nʼasunguwala, nʼaluma abugigi, naye nga talina kya kukola. Okwegomba kwʼababi tekuubengako kye kubagasa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
iv>