1Mutendereze Mukama! Mumutendereze, mmwe abaweereza be, mutendereze erinnya lya Mukama.
2ⓣ Erinnya lya Mukama litenderezebwe okuva leero nʼokutuusa emirembe gyonna.
3ⓤ Enjuba weeviirayo okutuusa bwʼegwa, erinnya lya Mukama litenderezebwenga.
4ⓥ Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna, era nʼekitiibwa kye kisinga eggulu.
5ⓦ Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, atuula ku ntebe ye eyʼobwakabaka eri waggulu ennyo,
6ne yeetoowaza okutunuulira eggulu nʼensi?
7ⓧ Abaavu abayimusa nʼabaggya mu nfuufu; nʼabali mu kwetaaga nʼabasitula ngʼabaggya mu vvu,
8ⓨ Nʼabatuuza wamu nʼabalangira, awamu nʼabalangira abo abafuga abantu be.
9Omukazi omugumba amuwa abaana, nʼabeera mu maka ge nʼezzadde lye ngʼajjudde essanyu.