1ⓩ Isirayiri bwe yava mu Misiri, abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;
2ⓐ Yuda nʼafuuka omutukuvu wa Katonda, Isirayiri nʼafuuka amatwale ge.
3ⓑ Ennyanja bwe yabalaba nʼedduka; Omugga Yoludaani ne gudda emabega.
4Ensozi ne zibuukabuuka ngʼendiga zisseddume, nʼobusozi obutono ngʼobuliga obuto.
5ⓒ Ggwe ennyanja, lwaki wadduka? Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?
6Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ngʼendiga zisseddume, nammwe obusozi obutono ngʼobuliga obuto?
7Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama, mu maaso ga Katonda wa Yakobo,
8ⓓ eyafuula olwazi ekidiba ekyʼamazzi, nʼolwazi olugumu nʼaluggyamu ensulo ezʼamazzi.