1Si ffe, Ayi Mukama, si ffe. Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa, olwʼokwagala kwo nʼolwʼobwesigwa bwo.
2Lwaki amawanga gabuuza nti, “Katonda waabwe ali ludda wa?”
3Katonda waffe ali mu ggulu; akola buli kyʼayagala.
4Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu, ebikolebwa nʼengalo zʼabantu,
5Birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba.
6Birina amatu, naye tebiwulira; birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
7Birina engalo, naye tebikwata; birina ebigere, naye tebitambula; ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi nʼakamu,
8ⓔ abakozi ababikola, nʼabo bonna ababyesiga balibifaanana.
9Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.
12Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa. Abʼennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa; abʼomu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13ⓕ Nʼabo abamutya, abʼekitiibwa nʼabatali ba kitiibwa, Mukama anaabawanga omukisa.
14Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi, mmwe nʼabaana bammwe.
15ⓖ Mukama, eyakola eggulu nʼensi, abawe omukisa.
16Eggulu eryʼoku ntikko lya Mukama, naye ensi yagiwa abantu bonna.
17ⓗ Abafu tebatendereza Mukama, wadde abo abaserengeta emagombe.
18ⓘ Naye ffe tunaatenderezanga Mukama, okuva leero nʼokutuusa emirembe gyonna.